Read Zabbuli Chapter 90 Online
Read Zabbuli Chapter 90 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 90
Essuula 90
1. Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky'okutuulamu Mu mirembe gyonna.
2. Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.
3. Osindika abantu mu kuzikirira; Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b'abantu.
4. Kubanga emyaka olukumi mu maaso go Giri ng'olwajjo olwayita, Era ng'ekisisimuka ky'ekiro.
5. Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng'otulo: Enkya bali ng'omuddo ogumera.
6. Enkya guloka, gumera; Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.
7. Kubanga obusungu bwo butumalawo, Era bw'onyiiga ne tweraliikirira.
8. Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go.
9. Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo; Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo.
10. Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
11. Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo, N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa?
12. Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, Tulyoke tufune omutima omugezigezi.
13. Okomewo, ai Mukama; olituusa wa? Era wejjuse mu bigambo eby'abaddu bo.
14. Otukkuse enkya n'okusaasira kwo; Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.
15. Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
16. Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.
17. Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe: Weewaawo, emirimu gy'emikono gyaffe oginywezenga.
About Zabbuli Chapter 90
Read Zabbuli Chapter 90 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 90
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 90 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 90?
Zabbuli Chapter 90 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 90 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 75
- Zabbuli Chapter 42
- Zabbuli Chapter 80
- Zabbuli Chapter 45
- Zabbuli Chapter 85
- Zabbuli Chapter 41
- Zabbuli Chapter 82