Zabbuli Chapter 39

For English

Read Zabbuli Chapter 39 Online

Read Zabbuli Chapter 39 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 39

Essuula 39

1. Nayogera nti Neekuumanga amakubo gange, Nnemenga okwonoonya olulimi lwange: Naasibanga akamwa kange n'olukoba, Omubi ng'ali mu maaso gange.

2. Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera.

3. Omutima gwange ne gwaka munda yange; Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera: Ne ndyoka njogera n'olulimi lwange:

4. Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ekigera eky'ennaku zange bwe kiri; Ntegeere bwe ndi omumenyefu.

5. Laba, ennaku zange wazikola ng'enta; N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, bw'anywerera ddala, mukka bukka. (Seera)

6. Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.

7. Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi.

8. Onziye mu byonoono byange byonna; Tonfuula kivume kya basirusiru.

9. Nasiruwala, saayasamya kamwa kange; Kubanga wakikola.

10. Onzigyeko omuggo gwo: Mmaliddwamu amaanyi olw'okukuba kw'omukono gwo.

11. Bw'obuuliriranga omuntu n'okunenya olw'obutali butuukirivu, Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng'ennyenje: Mazima, buli muntu mukka. (Seera)

12. Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange; Tosirikira maziga gange: Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali.

13. Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo.

About Zabbuli Chapter 39

Read Zabbuli Chapter 39 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 39
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 39 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 39?

Zabbuli Chapter 39 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 39 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 133
  2. Zabbuli Chapter 48
  3. Zabbuli Chapter 46
  4. Zabbuli Chapter 7
  5. Zabbuli Chapter 50
  6. Zabbuli Chapter 150
  7. Zabbuli Chapter 44

Related Chapters & Readings

  1. 1 Bassekabaka Chapter 18
  2. Zabbuli Chapter 43
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 14
  4. Zabbuli Chapter 21
  5. Olubereberye Chapter 50
  6. 1 Samwiri Chapter 25
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *