Read Engero Chapter 23 Online
Read Engero Chapter 23 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 23
Essuula 23
1. Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Olowoolezanga ddala oyo ali mu maaso go;
2. Era weeteekenga akambe ku bulago bwo, Oba nga oli muntu muluvu.
3. Teweegombanga nva ze ennungi; Kubanga bye byokulya eby'obulimba.
4. Teweekooyanga okuba omugagga; Vanga ku magezi go ggwe.
5. Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ebuuka mu bbanga.
6. Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So teweegombanga nva ze nnungi:
7. Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe.
8. Ennoga gy'olidde onoogisesema, N'ofiirwa ebigambo byo ebirungi.
9. Toyogeranga omusirusiru ng'awulira; Kubanga anaanyooma amagezi ag'ebigambo byo.
10. Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga mu nnimiro ez'abatalina bakitaabwe:
11. Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe.
12. Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya.
13. Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa.
14. Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe.
15. Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi, Omutima gwange gunaasanyuka, ogwange:
16. Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Emimwa gyo bwe gyogera eby'ensonga.
17. Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde:
18. Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo.
19. Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo.
20. Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Mu abo abeevuubiika ennyama:
21. Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina.
22. Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye.
23. Gulanga amazima, so togatundanga; Weewaawo, amagezi n'okuyigirizibwa n'okutegeera.
24. Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaabanga n'essanyu.
25. Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, N'omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26. Mwana wange, mpa omutima gwo, N'amaaso go gasanyukirenga amakubo gange.
27. Kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu; N'omukazi omugenyi bunnya bwa kanyigo.
28. Weewaawo; ateega ng'omunyazi, Era ayaza abasala enkwe mu bantu.
29. Ani alaba obuyinike? ani alaba ennaku? ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyusa amaaso?
30. Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge omutabule.
31. Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola:
32. Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa.
33. Amaaso go galiraba eby'ekitalo, N'omutima gwo gulyogera ebigambo eby'obubambaavu.
34. Weewaawo, oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti.
35. Bankubye, bw'olyogera bw'otyo, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Ndyebaka ddi? naagunoonya nate omulundi ogw'okubiri.
About Engero Chapter 23
Read Engero Chapter 23 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 23
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 23 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 23?
Engero Chapter 23 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 23 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 24
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 7
Explore More from engero
- Engero Chapter 10
- Engero Chapter 7
- Engero Chapter 20
- Engero Chapter 30
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 13