Engero Chapter 22

For English

Read Engero Chapter 22 Online

Read Engero Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 22

Essuula 22

1. Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi, N'okuganja n'okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu.

2. Omugagga n'omwavu baalabagana: Mukama ye yabatonda bonna.

3. Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.

4. Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.

5. Amaggwa n'ebyambika biri mu kkubo ery'omubambaavu: Akuuma emmeeme ye alibibeera wala.

6. Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.

7. Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola.

8. Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo.

9. Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye.

10. Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Weewaawo, okuwakana n'okuswazibwa birikoma.

11. Ayagala omutima omulongoofu, Olw'ekisa eky'omu mimwa gye kabaka kyanaavanga abeera mukwano gwe.

12. Amaaso ga Mukama gakuuma oyo alina okumanya, Naye asuula ebigambo eby'omuntu asala enkwe.

13. Omugayaavu ayogera nti Empologoma eri bweru: N'attirwa mu nguudo.

14. Akamwa k'abakazi abagenyi bunnya buwanvu: Akyayibwa Mukama aligwa omwo.

15. Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali.

16. Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi.

17. Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange.

18. Kubanga kigambo kya ssanyu bw'obeera nabyo mu nda yo, Bwe binywerera wamu ku mimwa gyo.

19. Obwesige bwo bube eri Mukama, Kyenvudde nkubimanyisa leero ggwe.

20. Sikuwandiikidde birungi nnyo nnyini Eby'okuteesa n'eby'okumanya;

21. Okukutegeeza ebigambo eby'amazima bwe bitabuusibwabuusibwa, Olyoke obaddize ebigambo eby'amazima abo abakutuma?

22. Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango:

23. Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.

24. Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi:

25. Olemenga okuyiga amakubo ge, N'ofunira emmeeme yo ekyambika.

26. Tobanga ku muwendo gw'abo abakuba mu ngalo, Newakubadde ogw'abo abeeyimirira amabanja:

27. Oba nga tolina kya kusasula, Lwaki akuggirawo ekitanda kyo wansi wo?

28. Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba.

29. Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso ga bakopi.

About Engero Chapter 22

Read Engero Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 22
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 22 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 22?

Engero Chapter 22 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 22 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 31
  2. Engero Chapter 26
  3. Engero Chapter 4
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 12
  7. Engero Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. Ezera Chapter 2
  2. Okuva Chapter 22
  3. Yobu Chapter 30
  4. Zabbuli Chapter 5
  5. Zabbuli Chapter 40
  6. Abaebbulaniya Chapter 5
  7. Yokaana Chapter 15
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *