Zabbuli Chapter 22

For English

Read Zabbuli Chapter 22 Online

Read Zabbuli Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 22

Essuula 22

1. Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange?

2. Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu; Era n'ekiro, so ssisirika.

3. Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri.

4. Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe: Beesiganga, naawe n'obawonya.

5. Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi.

6. Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu; Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma.

7. Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti

8. Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole: Amuwonye, kubanga amusanyukira.

9. Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange: Ggwe wanneesiza bwe nnali nga nkyali ku mabeere ga mmange.

10. Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange: Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.

11. Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi; Kubanga tewali anannyamba.

12. Zisseddume nnyingi zinneetoolodde: Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza.

13. Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma.

14. Nfukibwa ng'amazzi, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuuse wakati mu byenda byange.

15. Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo; N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange; Era ondeese mu nfuufu ey'okufa.

16. Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange.

17. Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso:

18. Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange:

19. Naye tobeera wala, ai Mukama: Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira.

20. Wonya emmeeme yange eri ekitala; Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa:

21. Ondokole mu kamwa k'empologama; Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu.

22. Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: Wakati mu kibiina naakutenderezanga.

23. Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.

24. Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.

25. Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya.

26. Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna.

27. Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama: N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go.

28. Kubanga obwakabaka bwa Mukama: Naye ye afuga amawanga.

29. Abagevvu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.

30. Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja.

31. Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa, nga ye abukola:

About Zabbuli Chapter 22

Read Zabbuli Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 22
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 22 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 22?

Zabbuli Chapter 22 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 22 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 54
  2. Zabbuli Chapter 23
  3. Zabbuli Chapter 63
  4. Zabbuli Chapter 62
  5. Zabbuli Chapter 47
  6. Zabbuli Chapter 100
  7. Zabbuli Chapter 61

Related Chapters & Readings

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 9
  2. Abaefeeso Chapter 5
  3. Mikka Chapter 6
  4. Lukka Chapter 23
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 17
  6. Ezekyeri Chapter 17
  7. Yobu Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *