Zabbuli Chapter 109

For English

Read Zabbuli Chapter 109 Online

Read Zabbuli Chapter 109 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 109

Essuula 109

1. Tosirika, ai Katonda gwe ntendereza;

2. Kubanga akamwa k'ababi n'akamwa k'obulimba bakanjasamidde: Boogedde nange n'olulimi olulimba.

3. Era banneetooloola n'ebigambo eby'okukyawa, Ne balwana nange awatali nsonga.

4. Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange: Naye nze nsaba.

5. Era bansasudde obubi olw'obulungi, N'okukyawa olw'okwagala kwange.

6. Omusseeko omuntu omubi: Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo.

7. Bw'asalirwa omusango, afulume nga gumusinze; Era okusaba kwe kufuuke ekibi.

8. Ennaku ze zibe ntono; Omulala alye obukulu bwe.

9. Abaana be babe nga tebalina kitaabwe, Ne mukazi we nnamwandu.

10. Abaana be babe mmomboze, basabirizenga; Banoonyenga emmere mu bifo byabwe ebyazika.

11. Omunyazi atege byonna by'alina; B'atamanyi banyageenyage emirimu gye.

12. Anaamwongerako ekisa amubule; Anaasaasira abaana be nga tebalina kitaabwe naye abule.

13. Ezzadde lye lizikirizibwe; Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe.

14. Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama: So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa.

15. Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna, Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi.

16. Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'oyo eyalina omutima ogumenyese, okubatta.

17. Weewaawo, yayagala okukolima, ne kutuuka gy'ali; So teyasanyukira kusaba mukisa, ne gumuba wala.

18. Era yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Ne kuyingira mu nda ye ng'amazzi, Era ng'amafuta mu magumba ge.

19. Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala, Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna.

20. Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama, N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange.

21. Naye olongoose ebyange, ai Katonda Mukama, olw'erinnya lyo: Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye.

22. Kubanga nze ndi mwavu, nneetaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange.

23. ŋŋendedde ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo: Nkuŋŋunta ng'enzige.

24. Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange guweebuuse obutagejja.

25. Era nfuuse ekivume gye bali: Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.

26. Onnyambe, ai Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli.

27. Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo: Nga ggwe, Mukama, wakikola.

28. Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa: Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka.

29. Abalabe bange bambale okuswazibwa, Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta.

30. Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange; Weewaawo, naamutenderezanga mu kibiina.

31. Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu, Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye.

About Zabbuli Chapter 109

Read Zabbuli Chapter 109 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 109
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 109 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 109?

Zabbuli Chapter 109 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 109 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 128
  2. Zabbuli Chapter 142
  3. Zabbuli Chapter 23
  4. Zabbuli Chapter 132
  5. Zabbuli Chapter 55
  6. Zabbuli Chapter 6
  7. Zabbuli Chapter 108

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 25
  2. 1 Bassekabaka Chapter 1
  3. 1 Peetero Chapter 4
  4. Ekyamateeka Chapter 21
  5. Abafiripi Chapter 2
  6. Abakkolosaayi Chapter 1
  7. Ezekyeri Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *