Read Engero Chapter 17 Online
Read Engero Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 17
Essuula 17
1. Akamere akaluma awamu n'obutereevu Kakira ennyumba ejjudde embaga omuli okuyomba.
2. Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akwasa ensonyi, Era aliba n'omugabo ogw'obusika mu b'oluganda.
3. Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu: Naye Mukama ye akema emitima.
4. Akola obubi assaayo omwoyo eri emimwa emibi; N'omulimba awulira olulimi olw'ettima.
5. Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we: N'oyo asanyukira obuyinike taliwona kubonerezebwa.
6. Abaana b'abaana ngule ya bakadde; N'abaana ekitiibwa kyabwe bakitaabwe.
7. Okwogera ebikulu tekusaanira musirusiru: Kale emimwa egirimba gisaanira gitya omulangira?
8. Ekirabo jjinja lya muwendo mungi mu maaso g'oyo ali nakyo: Gye kikyukira yonna kiraba omukisa.
9. Abikka ku kusobya anoonya okwagala: Naye ayeeyereza ekigambo akyayisa ab'omukwano ennyo.
10. Okunenya kuyingira nnyo mu nnyini kutegeera Okusinga emiggo kikumi bwe giyingira mu musirisuru.
11. Omuntu omubi anoonya bujeemu bwereere; Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata.
12. Eddubu enyagiddwako abaana baayo esisinkane n'omuntu, Aleme okusisinkana n'omusirusiru mu busirusiru bwe.
13. Asasula obubi olw'obulungi, Obubi tebuliva ku nnyumba ye.
14. Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.
15. Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga, Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama.
16. Kiki ekibeesaawo omuwendo mu mukono gw'omusirusiru okugula amagezi, Nga talina kutegeera?
17. Ow'omukwano ayagala mu biro byonna, Era ow'oluganda yazaalirwa obuyinike.
18. Omuntu abulwa okutegeera akuba mu ngalo, N'afuuka omuyima mu maaso ga munne.
19. Ayagala okuyomba ayagala okusobya: Agulumiza ennyo omulyango gwe anoonya okuzikirira.
20. Alina omutima omubambaavu taliiko bulungi bw'alaba: N'oyo alina olulimi olukyamu agwa mu bubi.
21. Azaala omusirusiru yeereetako obuyinike: Era kitaawe w'omusirusiru talina ssanyu.
22. Omutima ogujaguza ddagala ddungi: Naye omwoyo ogumenyese gukaza amagumba.
23. Omuntu omubi aggya enguzi mu kifuba, Okukyamya amakubo ag'okusala omusango.
24. Amagezi gaba mu maaso g'oyo alina okutegeera: Naye amaaso g'omusirusiru gaba mu njuyi z'ensi ezikomererayo.
25. Omwana omusirusiru buyinike bwa kitaawe, Era bubalagaze bwa mukazi eyamuzaala.
26. Era okubonereza omutuukirivu si kulungi, Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe,
27. Aziyiza ebigambo bye alina okumanya: N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu.
28. Era n'omusirusiru bw'asirika bamuyita wa magezi: Bw'abuniza emimwa gye bamulowooza nga mutegeevu.
About Engero Chapter 17
Read Engero Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 17
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 17 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 17?
Engero Chapter 17 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 17 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 28
Explore More from engero
- Engero Chapter 3
- Engero Chapter 8
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 31
- Engero Chapter 18
- Engero Chapter 15
- Engero Chapter 1