Read Zabbuli Chapter 51 Online
Read Zabbuli Chapter 51 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 51
Essuula 51
1. Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo; Mu bungi obw'okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna.
2. Onnaalize ddala mu bubi bwange, Onnongoose mu kwonoona kwange.
3. Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.
4. Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala.
5. Laba, nze natondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
6. Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima; Era mu mwoyo ogutalabika onommanyisa amagezi.
7. Ontukuze n'ezoobu, nange naaba mulungi: Onnaaze, nange naaba mutukuvu okusinga omuzira.
8. Ompulize essanyu n'okwesiima; Amagumba ge wamenya gasanyuke.
9. Okise amaaso go mu bibi byange, Osangule ebyonoono byange byonna.
10. Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi munda yange.
11. Tongoba w'oli; So tonziyaako omwoyo gwo omutukuvu.
12. Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo: Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe.
13. Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi; N'abalina ebibi balikyukira gy'oli.
14. Omponye mu musango gw'omusaayi, ai Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange; Olulimi lwange luliyimba nnyo obutuukirivu bwo.
15. Ai Mukama, yasamya emimwa gyange; N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo
16. Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naakukuwadde; Ebiweebwayo ebyokebwa tebikuwoomera.
17. Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.
18. Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala: Okolere Yerusaalemi bbugwe.
19. N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba: Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.
About Zabbuli Chapter 51
Read Zabbuli Chapter 51 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 51
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 51 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 51?
Zabbuli Chapter 51 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 51 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 123
- Zabbuli Chapter 9
- Zabbuli Chapter 8
- Zabbuli Chapter 10
- Zabbuli Chapter 85
- Zabbuli Chapter 117
- Zabbuli Chapter 81