Read Zabbuli Chapter 135 Online
Read Zabbuli Chapter 135 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 135
Essuula 135
1. Mumutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama, Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama:
2. Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe.
3. Mumutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi: Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu.
4. Kubanga Mukama yeeroboza Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba ow'envuma ye yekka.
5. Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna.
6. Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna.
7. Anyoosa omukka okuva ku nkomerero z'ensi; Aleetera enjota enkuba; Afulumya empewo mu mawanika ge.
8. Eyakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo.
9. Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna.
10. Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi;
11. Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka w'e Basani, N'amatwale gonna aga Kanani:
12. N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be.
13. Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna; N'ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna.
14. Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be, Era alyejjusa mu bigambo eby'abaddu be.
15. Ebifaananyi eby'amawanga ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
16. Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
17. Birina amatu, naye tebiwulira; So tewali mukka mu bumwa bwabyo.
18. Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga.
19. Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mumwebaze Mukama: Mmwe ennyumba ya Alooni, mumwebaze Mukama:
20. Mmwe ennyumba ya Leevi, mumwebaze Mukama: Mmwe abatya Mukama, mumwebaze Mukama.
21. Mukama yeebazibwe okuva mu Sayuuni, Atuula mu Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.
About Zabbuli Chapter 135
Read Zabbuli Chapter 135 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 135
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 135 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 135?
Zabbuli Chapter 135 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 135 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 16
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 46
- Zabbuli Chapter 113
- Zabbuli Chapter 20
- Zabbuli Chapter 148
- Zabbuli Chapter 38
- Zabbuli Chapter 3
- Zabbuli Chapter 141