Read Zabbuli Chapter 139 Online
Read Zabbuli Chapter 139 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 139
Essuula 139
1. Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya.
2. Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.
3. Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna.
4. Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, ai Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala.
5. Onzingizizza mu maaso n'ennyuma, Era ontaddeko omukono gwo.
6. Okumanya okuliŋŋanga okwo kwa kitalo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako.
7. Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go?
8. Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli: Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli.
9. Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo;
10. Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata.
11. Bwe ndyogera nti Enzikiza teereme kumbikkako, N'omusana ogunneetoolodde gunaaba ekiro;
12. Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, Naye ekiro kyaka ng'omusana: Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli.
13. Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange.
14. Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.
15. Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi.
16. Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyawumbibwanga buli lunaku buli lunaku, Bwe byali nga tebinnabaawo n'ekimu.
17. Era n'ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu nga bingi!
18. Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo: Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe.
19. Tolirema kutta babi, ai Katonda: Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi.
20. Kubanga bakwogerako bubi, N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo.
21. Sibakyawa abo, ai Mukama, abakukyawa ggwe? Sinyiigira abo abakugolokokerako?
22. Mbakyawa okukyawa okutuukiridde Mbayita balabe bange.
23. Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: Onkeme, omanye ebirowoozo byange:
24. Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze, Era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.
About Zabbuli Chapter 139
Read Zabbuli Chapter 139 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 139
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 139 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 139?
Zabbuli Chapter 139 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 139 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 72
- Zabbuli Chapter 121
- Zabbuli Chapter 39
- Zabbuli Chapter 112
- Zabbuli Chapter 19
- Zabbuli Chapter 117
- Zabbuli Chapter 89