Okuva Chapter 33

For English

Read Okuva Chapter 33 Online

Read Okuva Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okuva 33

Essuula 33

1. Mukama n'agamba Musa nti Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo:

2. era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi:

3. mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki: kubanga nze siririnnya wakati mu mumwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: nneme okukuzikiriza mu kkubo.

4. Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala: ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo bye.

5. Mukama n'agamba Musa nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza: kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.

6. Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo.

7. Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira.

8. Era Musa bwe yafulumanga n'agendanga mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema.

9. Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema: Mukama n'ayogera ne Musa.

10. Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema: abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye.

11. Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate: naye omuweereza we, Yoswa, omwana wa Nuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.

12. Musa n'agamba Mukama nti Laba, ondagira nti Twala abantu bano: n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.

13. Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.

14. N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.

15. N'amugamba nti Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano.

16. Kubanga kiritegeerebwa kitya nga nze nalaba ekisa mu maaso go, nze n'abantu bo? si kyekiriva kitegeerebwa kubanga ogenda naffe, n'okwawulwa ne twawulibwa, nze n'abantu bo, mu bantu bonna abali ku maaso g'ensi?

17. Mukama n'agamba Musa nti Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola: kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya.

18. N'ayogera nti Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo.

19. N'ayogera nti Naayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go, era naatendera erinnya lya Mukama mu maaso go; era naamukwatirwanga ekisa gwe naakwatirwanga ekisa, era naamusaasiranga gwe naasaasiranga.

20. N'ayogera nti Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu.

21. Mukama n'ayogera nti Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja:

22. awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaaba nga kiyita, naakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo:

23. ne nziyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange: naye amaaso gange tegaalabike.

About Okuva Chapter 33

Read Okuva Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okuva
Chapter: 33
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okuva Chapter 33 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okuva Chapter 33?

Okuva Chapter 33 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okuva Chapter 33 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from okuva

  1. Okuva Chapter 37
  2. Okuva Chapter 26
  3. Okuva Chapter 13
  4. Okuva Chapter 18
  5. Okuva Chapter 21
  6. Okuva Chapter 31
  7. Okuva Chapter 24

Related Chapters & Readings

  1. Ebyabaleevi Chapter 20
  2. Yobu Chapter 9
  3. Yeremiya Chapter 44
  4. Engero Chapter 30
  5. Yobu Chapter 42
  6. Okukungubaga Chapter 1
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *