Read 1 Ebyomumirembe Chapter 10 Online
Read 1 Ebyomumirembe Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Ebyomumirembe 10
Essuula 10
1. Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka Abafirisuuti ne bagwa nga battiddwa ku lusozi Girubowa.
2. Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu, ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3. Awo olutalo Sawulo ne lumugendera bubi, abalasi ne bamutuukako; neyeeraliikirira olw'abalasi.
4. Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
5. Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afa.
6. Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.
7. Awo abasajja bonna aba Isiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba nga badduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8. Awo olwatuuka olw'okubiri, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bagudde ku lusozi Girubowa.
9. Ne bamwambula, ne baddira omutwe gwe n'ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi y'Abafirisuuti enjuyi zonna, okutwala ebigambo ebyo eri ebifaananyi byabwe, n'eri abantu.
10. Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya bakatonda baabwe, ne basimba omutwe gwe mu ssabo lya Dagoni.
11. Awo ab'e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye bakoze Sawulo,
12. abazira bonna ne bagolokoka ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gaabwe wansi w'omwera e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.
13. Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; era kubanga yalagulwa eri eyaliko omuzimu, okumubuulizaamu,
14. n'atalagulwa eri Mukama: kyeyava amutta, n'akyusa obwakabaka eri Dawudi mutabani wa Yese.
About 1 Ebyomumirembe Chapter 10
Read 1 Ebyomumirembe Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Ebyomumirembe
Chapter: 10
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Ebyomumirembe Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Ebyomumirembe Chapter 10?
1 Ebyomumirembe Chapter 10 is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Ebyomumirembe Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Ebyomumirembe
- 1 Ebyomumirembe Chapter 28
- 1 Ebyomumirembe Chapter 26
- 1 Ebyomumirembe Chapter 25
- 1 Ebyomumirembe Chapter 23
- 1 Ebyomumirembe Chapter 22
- 1 Ebyomumirembe Chapter 21
- 1 Ebyomumirembe Chapter 19
Explore More from Endagaano Enkadde
- Ezekyeri Chapter 7
- Engero Chapter 15
- Zabbuli Chapter 10
- Yeremiya Chapter 17
- Yobu Chapter 32
- Yoswa Chapter 14
- 2 Samwiri Chapter 9