Zabbuli Chapter 40

For English

Read Zabbuli Chapter 40 Online

Read Zabbuli Chapter 40 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 40

Essuula 40

1. Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza; N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange.

2. Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi; N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange.

3. Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama.

4. Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.

5. Ebikolwa eby'ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, N'ebirowoozo byo ebiri gye tuli: Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu; Singa mbadde njagala okubibuulira n'okubyogerako, Tebibalika obungi.

6. Ssaddaaka n'ebiweebwayo tobisanyukira; Amatu gange ogawulizza: Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala.

7. Ne ndyoka njogera nti Laba nzize; Mu muzingo ogw'ekitabo ekyampandiikwako:

8. Nsanyuka okukola by'oyagala, ai Katonda wange; Weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.

9. Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene; Laba, ssiibunizenga mimwa gyange, Ai Mukama, ggwe omanyi.

10. Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda; Mbuulidde obwesige bwo n'obulokozi bwo: Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.

11. Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi: Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.

12. Kubanga obubi obutabalika bunneetoolodde, Obutali butuukirivu bwange buntuuseeko n'okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu; Businga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese.

13. Kkiriza, ai Mukama, okumponya: Yanguwa okunnyamba, ai Mukama.

14. Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna wamu. Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza: Bazzibwe ennyuma banyoomebwe Abo abasanyukira nze okulaba akabi.

15. Balekebwe olw'ensonyi zaabwe Abo abansooza.

16. Bonna abakunoonya bakusanyukire bajaguze: Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Mukama agulumizibwe.

17. Naye nze ndi mwavu, neetaaga; Mukama andowooza: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Tolwawo, ai Katonda wange.

About Zabbuli Chapter 40

Read Zabbuli Chapter 40 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 40
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 40 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 40?

Zabbuli Chapter 40 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 40 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 17
  2. Engero Chapter 12
  3. Engero Chapter 25
  4. Engero Chapter 22
  5. Engero Chapter 19
  6. Engero Chapter 23
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 104
  2. Zabbuli Chapter 73
  3. Zabbuli Chapter 81
  4. Zabbuli Chapter 9
  5. Zabbuli Chapter 90
  6. Zabbuli Chapter 68
  7. Zabbuli Chapter 122

Related Chapters & Readings

  1. Yobu Chapter 19
  2. Ezekyeri Chapter 1
  3. Okuva Chapter 20
  4. Yakobo Chapter 3
  5. Okubala Chapter 23
  6. Isaaya Chapter 37
  7. Zabbuli Chapter 34
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *