Zabbuli Chapter 49

For English

Read Zabbuli Chapter 49 Online

Read Zabbuli Chapter 49 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 49

Essuula 49

1. Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi:

2. Abakopi era n'abakulu, Abagagga n'abaavu awamu.

3. Akamwa kange kanaayogera amagezi; N'omutima gwange gunaalowooza eby'okumanya.

4. Okutu kwange naakutegera olugero: Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga.

5. Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange?

6. Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi;

7. Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe:

8. (Kubanga ekinunulo eky'emmeeme yaabwe kizibu, Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:)

9. Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Alemenga okulaba okuvunda,

10. Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala:

11. lowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna, Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.

12. Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa: Ali ng'ensolo ezizikirira.

13. Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe: Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera)

14. Bateekerwawo magombe ng'ekisibo; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe: Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu.

15. Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alinzikiriza. (Seera)

16. Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera:

17. Kubanga bw'alifa talitwala kintu: Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera:

18. Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi,

19. Alikka mu mirembe gya bajjajja be; Tebaliraba musana nate.

20. Omuntu alina ekitiibwa n’atategeera, Ali ng'ensolo ezizikirira.

About Zabbuli Chapter 49

Read Zabbuli Chapter 49 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 49
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 49 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 49?

Zabbuli Chapter 49 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 49 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 46
  2. Zabbuli Chapter 136
  3. Zabbuli Chapter 60
  4. Zabbuli Chapter 32
  5. Zabbuli Chapter 93
  6. Zabbuli Chapter 24
  7. Zabbuli Chapter 10

Related Chapters & Readings

  1. Yobu Chapter 20
  2. Ebyabaleevi Chapter 25
  3. Lukka Chapter 13
  4. Olubereberye Chapter 12
  5. Lukka Chapter 10
  6. Matayo Chapter 22
  7. Makko Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *