Read Zabbuli Chapter 81 Online
Read Zabbuli Chapter 81 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 81
Essuula 81
1. Muyimbirenga waggulu Katonda amaanyi gaffe: Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo.
2. Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa, Ennanga ennungi era n'amadinda.
3. Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke, Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga.
4. Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri, Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo.
5. Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa, Bwe yabuna ensi y'e Misiri: Gye nnawuulira olulimi lwe ssaamanya.
6. N'aggya ekibegabega kye ku mugugu; Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo.
7. Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya; Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka: Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba. (Seera)
8. Muwulire, mmwe abantu bange, nange naabategeeza: Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira!
9. Temuubenga katonda munnaggwanga mu ggwe; So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna.
10. Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri: Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.
11. Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange; So Isiraeri teyanjagala n'akatono.
12. Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo.
13. Singa abantu bange bakkiriza okumpulira, Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange!
14. Nandiwangudde mangu abalabe baabwe, Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo.
15. Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde: Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna.
16. Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano: Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja.
About Zabbuli Chapter 81
Read Zabbuli Chapter 81 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 81
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 81 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 81?
Zabbuli Chapter 81 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 81 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 103
- Zabbuli Chapter 120
- Zabbuli Chapter 149
- Zabbuli Chapter 107
- Zabbuli Chapter 92
- Zabbuli Chapter 110
- Zabbuli Chapter 27