Ekyamateeka Chapter 13

For English

Read Ekyamateeka Chapter 13 Online

Read Ekyamateeka Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 13

Essuula 13

1. Bwe wanaabangawo wakati mu ggwe nabbi oba omuloosi w'ebirooto, n'akuwa akabonero oba eky'amagero,

2. akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne kituukirira, kye yakugambako ng'ayogera nti Tugobererenga bakatonda abalala b'otomanyanga, era tubaweerezenga;

3. towuliranga bigambo bya nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto oyo: kubanga Mukama Katonda wammwe ng'abakema okumanya nga mwagala Mukama Katonda wammwe n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna.

4. Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezaaga, ne mwegattanga naye.

5. Era nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde eby'okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu, okukusendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw'otyo bw'onoggyangamu obubi wakati mu ggwe.

6. Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi ow'omu kifuba kyo, oba mukwano gwo, aliŋŋanga obulamu bwo ggwe, bw'akusendasendanga ekyama, ng'ayogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala, b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo;

7. ku bakatonda ab'amawanga ababeetoolodde, abali okumpi naawe, oba abakuli ewala okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi:

8. tomukkirizanga so tomuwuliranga; so n'eriiso lyo terimusaasiranga, so tosonyiwanga, so tomukwekanga:

9. naye tolemanga kumutta; omukono gwo gwe gunaasookanga okuba ku ye okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubaako.

10. Era onoomukubanga amayinja afe; kubanga agezezzaako okukusendasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.

11. Ne Isiraeri yenna anaawuliranga, ne batya, ne batakola nate bubi obwenkana awo wakati mu ggwe,

12. Bw'onoowuliranga nga boogera ku kimu ku bibuga byo, Mukama Katonda wo by'akuwa okutuula omwo, nga bagamba nti

13. Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu ggwe, era abasenzesenze abatuula mu kibuga kyabwe, nga boogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala be mutamanyanga;

14. onookeberanga n'onoonya n'obuuliriza; era laba, oba nga kya mazima, ekigambo ne kitegeerekeka, ng'eky'omuzizo ekyenkana awo kikolerwa wakati mu ggwe;

15. tolemanga kutta abatuula mu kibuga omwo n’obwogi bw'ekitala, ng'okizikiririza ddala ne byonna ebikirimu n'ebisibo byakyo, n'obwogi bw'ekitala.

16. Era onookuŋŋaanyanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu luguudo lwakyo, n'oyokya ekibuga omuliro, n'omunyago gwonna buli kantu konna, eri Mukama Katonda wo: era kinaabanga kifunvu ennaku zonna; tekirizimbibwa nate.

17. So tewabanga ku kintu ekyakolimirwa ekineegattanga n'omukono gwo: Mukama akyuke okuleka obusungu bwe obukambwe, akulage ekisa, akusaasire, era akwaze, nga bwe yalayirira bajjajja bo;

18. bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okukolanga ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi.

About Ekyamateeka Chapter 13

Read Ekyamateeka Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 13
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 13?

Ekyamateeka Chapter 13 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 20
  2. Ekyamateeka Chapter 27
  3. Ekyamateeka Chapter 15
  4. Ekyamateeka Chapter 4
  5. Ekyamateeka Chapter 9
  6. Ekyamateeka Chapter 3
  7. Ekyamateeka Chapter 5

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Danyeri Chapter 10
  2. 2 Bassekabaka Chapter 15
  3. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 8
  4. 2 Samwiri Chapter 19
  5. Isaaya Chapter 34
  6. Zabbuli Chapter 72
  7. 1 Ebyomumirembe Chapter 4

Related Chapters & Readings

  1. Abaggalatiya Chapter 3
  2. Lukka Chapter 12
  3. Lukka Chapter 7
  4. Engero Chapter 3
  5. Yobu Chapter 35
  6. Olubereberye Chapter 17
  7. Okubikkulirwa Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *