Zabbuli Chapter 66

For English

Read Zabbuli Chapter 66 Online

Read Zabbuli Chapter 66 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 66

Essuula 66

1. Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ensi yonna:

2. Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye: Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa.

3. Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira.

4. Ensi yonna erikusinza, Erikuyimbira ggwe; Baliyimbira erinnya lyo. (Seera)

5. Mujje mulabe emirimu gya Katonda; Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu.

6. Ennyanja yagifuula olukalu: Baayita mu mugga n'ebigere: Awo we twamusanyukirira.

7. Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga: Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)

8. Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe, Muwulize eddoboozi erimutendereza:

9. Akwatirira emmeeme yaffe obutafa, Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana.

10. Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza: Watukema nga bwe bakema effeeza.

11. Watuyingiza mu kitimba; Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe.

12. Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe; Twayita mu muliro ne mu mazzi; Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga.

13. Naayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa, Naakusasula obweyamo bwange,

14. Emimwa gyange bwe gyayogera, N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku.

15. Naakuwa ebyokwokya ebya ssava, N'ebyokwoteza eby'endiga eza seddume; Naawaayo ente n'embuzi. (Seera)

16. Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda, Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange.

17. Namukoowoola n’akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange.

18. Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire:

19. Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.

20. Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe.

About Zabbuli Chapter 66

Read Zabbuli Chapter 66 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 66
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 66 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 66?

Zabbuli Chapter 66 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 66 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 23
  2. Zabbuli Chapter 18
  3. Zabbuli Chapter 118
  4. Zabbuli Chapter 17
  5. Zabbuli Chapter 117
  6. Zabbuli Chapter 83
  7. Zabbuli Chapter 139

Related Chapters & Readings

  1. Tito Chapter 2
  2. Ezekyeri Chapter 2
  3. Engero Chapter 19
  4. Matayo Chapter 22
  5. Lukka Chapter 4
  6. Ebikolwa Chapter 7
  7. 2 Abakkolinso Chapter 12
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *