Zabbuli Chapter 77

For English

Read Zabbuli Chapter 77 Online

Read Zabbuli Chapter 77 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 77

Essuula 77

1. Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange; Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga.

2. Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.

3. Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira: Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera)

4. Okwata ku maaso gange nga gatunula: Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.

5. Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda.

6. Njijukira oluyimba lwange ekiro Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.

7. Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate?

8. Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?

9. Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera)

10. Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.

11. Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.

12. Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.

13. Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?

14. Ggwe Katonda akola eby'amagero: Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.

15. Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera)

16. Amazzi gaakulaba, ai Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya: Era n'obuziba ne bukankana.

17. Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne lireeta eddoboozi : Era n'obusaale bwo ne bubuna.

18. Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna: Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.

19. Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika.

20. Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni.

About Zabbuli Chapter 77

Read Zabbuli Chapter 77 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 77
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 77 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 77?

Zabbuli Chapter 77 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 77 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 22
  2. Zabbuli Chapter 134
  3. Zabbuli Chapter 122
  4. Zabbuli Chapter 85
  5. Zabbuli Chapter 31
  6. Zabbuli Chapter 130
  7. Zabbuli Chapter 56

Related Chapters & Readings

  1. Ezera Chapter 5
  2. Malaki Chapter 4
  3. Okubikkulirwa Chapter 4
  4. Yokaana Chapter 17
  5. Nekkemiya Chapter 13
  6. Ebyabaleevi Chapter 25
  7. 1 Samwiri Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *