Engero Chapter 19

For English

Read Engero Chapter 19 Online

Read Engero Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 19

Essuula 19

1. Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira ow'emimwa emikyamu era omusirusiru.

2. Era emmeeme obutaba na kumanya si kirungi; N'oyo ayanguyiriza n'ebigere bye ayonoona.

3. Obusirusiru bw'omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; N'omutima gwe gunyiigira Mukama.

4. Obugagga bwongera emikwano mingi: Naye omwavu akyawagana ne mukwano gwe.

5. Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; N'oyo ayogera eby'okudyeka talirokoka.

6. Bangi abalimusaba omugabagabanyi obuganzi: Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo.

7. Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Abayigganya n'ebigambo, naye nga bagenze.

8. Afuna amagezi ayagala emmeeme ye: Anyweza okutegeera aliraba ebirungi.

9. Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; Naye ayogera eby'obulimba alizikirira.

10. Okwekanasa tekusaanira musirusiru; Kale omuddu okufuga abalangira kusaana kutya?

11. Okuteesa kw'omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; Era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.

12. Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye obuganzi bwe musulo ku ssubi.

13. Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi kwe kutonnya olutata.

14. Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

15. Obugayaavu buleeta otulo tungi; N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala.

16. Akuuma ekiragiro akuuma emmeeme ye: Naye atassaayo mwoyo eri amakubo ge alifa.

17. Asaasira omwavu awola Mukama, Era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.

18. Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe.

19. Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa: Kubanga bw'olimuwonya kirigwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogw'okubiri.

20. Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa, Obeere n'amagezi enkomerero yo ng'etuuse.

21. Mu mutima gw'omuntu mulimu okufumiitiriza kungi; Naye okuteesa kwa Mukama kwe kunaanyweranga.

22. Omuntu ekimwagaza kisa kye: N'omwavu akira omulimba.

23. Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi.

24. Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, So tayagala na kuguzza nate ku kamwa ke.

25. Kuba omunyoomi, atalina magezi anaayiga obutegeevu: Era buulirira alina okutegeera; era anaategeera okumanya.

26. Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.

27. Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami okuva mu bigambo eby'okumanya.

28. Omujulirwa ataaliiko ky'agasa akudaalira omusango: N'akamwa k'ababi kamira obutali butuukirivu.

29. Emisango gyategekerwa abanyoomi, N'emiggo gyategekerwa amabega g'abasirusiru.

About Engero Chapter 19

Read Engero Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 19
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 19 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 19?

Engero Chapter 19 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 19 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 14

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 17
  2. Engero Chapter 20
  3. Engero Chapter 24
  4. Engero Chapter 13
  5. Engero Chapter 23
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 50
  2. Okuva Chapter 35
  3. Abaebbulaniya Chapter 9
  4. Ebyabaleevi Chapter 19
  5. Makko Chapter 15
  6. Ebikolwa Chapter 26
  7. Ebyabaleevi Chapter 16
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *