Zabbuli Chapter 38

For English

Read Zabbuli Chapter 38 Online

Read Zabbuli Chapter 38 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 38

Essuula 38

1. Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo: So tombuuliririra mu kiruyi kyo ekibuubuuka.

2. Kubanga obusaale bwo bunkwatidde ddala, N'omukono gwo gunnyigirizza nnyo.

3. Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; So temuli kuwona mu magumba gange olw'okwonoona kwange.

4. Kubanga obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange. Ng'omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.

5. Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange.

6. Nnumiddwa, nkutamizibbwa nnyo; Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.

7. Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange.

8. Nnyongobera, mmenyesemenyese: Mpulugumye olw'okweraliikirira kw'omutima gwange.

9. Mukama, bye njagala byonna biri mu maaso go; N'okusinda kwange tekukukisibwa.

10. Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu: Omusana ogw'amaaso gange, era nagwo gumbuze.

11. Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange; Ne baganda bange bayimirira wala.

12. Era n'abo abanjigganya obulamu bwange banteega; N'abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby'ettima, Era balowooza eby'obulimba obudde okuziba.

13. Naye nze, ng'omuzibe w'amatu, ssiwulira; Era nninga omusiru atayasama kamwa ke.

14. Mazima, nninga omuntu atawulira, Ne mu kamwa ke temuli kunenya.

15. Kubanga eri ggwe, ai Mukama, gye nsuubira: Oliddamu, ai Mukama Katonda wange.

16. Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako: Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako.

17. Kubanga nze ndi kumpi n'okuwenyera, N'ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo.

18. Kubanga naayatulanga obutali butuukirivu bwange; Naanakuwalanga olw'okwonoona kwange.

19. Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi: N'abo abankyawa olw'obulimba beeyongedde.

20. Era n'abo abasasula obubi olw'obulungi. Be balabe bange, kubanga ngoberera ebigambo ebirungi.

21. Tondeka, ai Mukama: Ai Katonda wange, tombeera wala.

22. Yanguwa okunnyamba, Ai Mukama, obulokozi bwange.

About Zabbuli Chapter 38

Read Zabbuli Chapter 38 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 38
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 38 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 38?

Zabbuli Chapter 38 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 38 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 140
  2. Zabbuli Chapter 16
  3. Zabbuli Chapter 137
  4. Zabbuli Chapter 59
  5. Zabbuli Chapter 75
  6. Zabbuli Chapter 71
  7. Zabbuli Chapter 103

Related Chapters & Readings

  1. Okubala Chapter 6
  2. Lukka Chapter 15
  3. Engero Chapter 10
  4. Yobu Chapter 35
  5. Danyeri Chapter 12
  6. Ebikolwa Chapter 19
  7. Danyeri Chapter 9
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *