Read Zabbuli Chapter 33 Online
Read Zabbuli Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 33
Essuula 33
1. Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima.
2. Mumwebaze Mukama n'ennanga: Muyimbe okumutendereza n'ennanga ey'engoye kkumi.
3. Mumuyimbire oluyimba oluggya; Mukube ennanga n'amagezi n'eddoboozi ddene.
4. Kubanga ekigambo kya Mukama kigolokofu; N'omulimu gwe gwonna (agukola) mu bwesigwa.
5. Ayagala obutuukirivu n'amazima: Ensi ejjudde ekisa kya Mukama.
6. Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwake.
7. Amazzi ag'omu nnyanja agakuŋŋaanya ng'entuumo: Atereka amadubi mu mawanika.
8. Ensi zonna zityenga Mukama: Bonna abali mu nsi zonna bamukankanirenga.
9. Kubanga yayogera ne kikolebwa; Yalagira ne kinywera.
10. Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga: Adibya ebirowoozo by'abantu.
11. Okuteesa kwa Mukama kunywera ennaku zonna, N'ebirowoozo by'omutima gwe okutuusa emirembe gyonna.
12. Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo liweereddwa omukisa; Abantu be yalonda okuba obusika bwe ye.
13. Mukama alengera ng'ayima mu ggulu; Atunuulira abaana b'abantu bonna;
14. Ng'ayima mu kifo eky'ekisulo kye alaba Ku abo abali mu nsi bonna;
15. Abumba emitima gyabwe bonna, Alowooza ebikolwa byabwe byonna.
16. Tewali kabaka alokoka olw'eggye okuba eringi: Omuzira tawonyezebwa maanyi mangi.
17. Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi.
18. Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe;
19. Okuwonyanga emmeeme yaabwe okufa, N'okubakuumanga abalamu mu njala.
20. Emmeeme yaffe erindiridde Mukama: Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe.
21. Kubanga omutima gwaffe gunaasanyukira oyo, Kubanga twesize erinnya lye ettukuvu.
22. Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubira mu ggwe.
About Zabbuli Chapter 33
Read Zabbuli Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 33
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 33 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 33?
Zabbuli Chapter 33 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 33 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 20
- Zabbuli Chapter 140
- Zabbuli Chapter 10
- Zabbuli Chapter 16
- Zabbuli Chapter 123
- Zabbuli Chapter 47
- Zabbuli Chapter 25