2 Bassekabaka Chapter 25

For English

Read 2 Bassekabaka Chapter 25 Online

Read 2 Bassekabaka Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Bassekabaka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Bassekabaka 25

Essuula 25

1. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda kasooka alya obwakabaka, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okulwana ne Yerusaalemi, n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.

2. Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuusa ku mwaka ogwa kabaka Zedeekiya ogw'ekkumi n'ogumu.

3. Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogw'okuna enjala n'enyiikira mu kibuga, emmere n'okubula n'ebula abantu ab'omu nsi eyo.

4. Awo ne bawagula mu kibuga ekituli, abasajja bonna abalwanyi ne badduka kiro mu kkubo ery'omulyango oguli wakati wa babbugwe babiri ogwaliraana olusuku lwa kabaka: (era Abakaludaaya baali nga bazingizizza ekibuga enjuyi zonna:) kabaka n'ayita mu kkubo erya Alaba.

5. Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira.

6. Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa ne bamuleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula; ne bamusalira omusango.

7. Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso Zeddekiya, ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babulooni.

8. Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi:

9. n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba ennene, n'azookya omuliro.

10. N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali n'omukulu w'abambowa ne bamenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna.

11. N'abantu abafisseewo abasigadde mu kibuga n'abo abaasenguka abaasenga kabaka w'e Babulooni n'abaffisseewo ku kibiina, abo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwalira ddala nga basibe.

12. Naye omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abaasinga obwavu ab'omu nsi eyo okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga.

13. N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyamenya, ne batwala ebikomo byamu e Babulooni.

14. N'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo bye baaweerezanga nabyo, ne babiggyayo.

15. N'ebyoterezo n'ebibya; ebyali ebya zaabu, zaabu yaako, n'ebyali ebya ffeeza, ffeeza yaako, omukulu w'abambowa n'abiggyayo.

16. Empagi zombi, ennyanja emu, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; ebikomo eby'ebintu bino byonna tebyagereka.

17. Empagi emu obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana, n'omutwe ogw'ekikomo gwali ku yo: n'omutwe obugulumivu bwagwo emikono esatu; omulimu omuluke n'amakomamawanga nga biri ku mutwe okwetooloola, byonna bya bikomo: n'empagi ey'okubiri yalina ebifaanana ebyo, n'omulimu omuluke.

18. Omukulu w'abambowa n'akwata Seraya kabona asinga obukulu ne Zeffaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu:

19. ne mu kibuga n'aggyamu omwami eyakulira abasajja abalwanyi; n'abasajja bataano ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'omu nsi; n'abasajja nkaaga ku bantu ab'omu nsi eyo abaalabika mu kibuga.

20. Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abakwata n'abaleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula.

21. Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bw'atyo Yuda n'atwalibwa nga musibe ng'aggibwa mu nsi ye.

22. N'abantu abaasigala mu nsi ya Yuda Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yaleka, abo n'abafuulira Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani omukulu waabwe.

23. Awo abaami bonna ab'eggye, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afudde Gedaliya omukulu, ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe.

24. Awo Gedaliya n'abalayirira bo n'abasajja baabwe n'abagamba nti Temutya olw'abaddu b'Abakaludaaya: mubeere mu nsi muweereze kabaka w'e Babulooni, kale muliba bulungi.

25. Naye olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya mutabani wa Erisaama ow'ezzadde lya kabaka n'ajja n'abasajja kkumi wamu naye ne bafumita Gedaliya n'okufa n'afa, n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa.

26. Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne bagolokoka ne bajja e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya.

27. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu musanvu Evirumerodaki kabaka w'e Babulooni n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda okumuggya mu kkomera mu mwaka mwe yatanulira okufuga;

28. n'amugamba eby'ekisa n'agulumiza entebe ye okusinga bakabaka abaali awamu naye mu Babulooni.

29. N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera n'aliiranga emmere mu maaso ge ennaku zonna ez'obulamu bwe.

30. N'okumuliisanga kabaka n'amuwa ebya bulijjo eby'okumuliisanga, buli lunaku omugabo gwalwo, ennaku zonna ez'obulamu bwe.

About 2 Bassekabaka Chapter 25

Read 2 Bassekabaka Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Bassekabaka
Chapter: 25
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Bassekabaka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Bassekabaka Chapter 25 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Bassekabaka Chapter 25?

2 Bassekabaka Chapter 25 is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Bassekabaka Chapter 25 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-bassekabaka

  1. 2 Bassekabaka Chapter 18
  2. 2 Bassekabaka Chapter 10
  3. 2 Bassekabaka Chapter 7
  4. 2 Bassekabaka Chapter 17
  5. 2 Bassekabaka Chapter 23
  6. 2 Bassekabaka Chapter 22
  7. 2 Bassekabaka Chapter 14

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Okubala Chapter 26
  2. Okuva Chapter 28
  3. Zabbuli Chapter 91
  4. Koseya Chapter 1
  5. Yeremiya Chapter 27
  6. Yobu Chapter 24
  7. Olubereberye Chapter 31

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 28
  2. Zabbuli Chapter 69
  3. Yokaana Chapter 4
  4. Makko Chapter 1
  5. Zabbuli Chapter 49
  6. Engero Chapter 20
  7. Ekyamateeka Chapter 19
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *