Zabbuli Chapter 55

For English

Read Zabbuli Chapter 55 Online

Read Zabbuli Chapter 55 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 55

Essuula 55

1. Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda; So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange.

2. Mpulira, onziremu: Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda;

3. Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bansuulako ebikolwa ebibi, Era banjigganya mu busungu.

4. Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko.

5. Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye.

6. Ne njogera nti Singa mbadde n’ebiwaawaatiro ng'ejjiba Nandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula.

7. Laba, nandikyamidde wala, Nandisuze mu ddungu. (Seera)

8. Nandyanguye okudduka mu kiddukiro Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi.

9. Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe: Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga.

10. Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo: Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo.

11. Okwonoona kuli wakati mu kyo: Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo.

12. Kubanga omulabe si ye yanvuma; Nandiyinzizza okugumiikiriza: So si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako; Nandyekwese mu maaso ge:

13. Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambula nange, mukwano gwange gwe namanyiira ennyo.

14. Twateesanga ebigambo n'essanyu fembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina.

15. Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu: Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.

16. Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga.

17. Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: Naye anaawuliranga eddoboozi lyange.

18. Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi.

19. Katonda aliwulira, alibaddamu, ye oyo abeerera edda n'edda lyonna, (Seera) Alibaddamu abo abatalaba biggya, Abatatya Katonda.

20. Yagolola emikono gye ku abo abaali batabaganye naye: Yanyooma endagaano ye.

21. Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo, Naye omutima gwe kulwana: Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, Naye byali bitala ebisowoddwamu.

22. Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.

23. Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira: Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe; Naye nze neesiganga ggwe.

About Zabbuli Chapter 55

Read Zabbuli Chapter 55 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 55
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 55 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 55?

Zabbuli Chapter 55 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 55 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 46
  2. Zabbuli Chapter 114
  3. Zabbuli Chapter 5
  4. Zabbuli Chapter 79
  5. Zabbuli Chapter 110
  6. Zabbuli Chapter 93
  7. Zabbuli Chapter 54

Related Chapters & Readings

  1. Okuva Chapter 22
  2. Ezekyeri Chapter 25
  3. Okukungubaga Chapter 2
  4. Ezekyeri Chapter 47
  5. 2 Abakkolinso Chapter 5
  6. Ezekyeri Chapter 30
  7. 1 Abakkolinso Chapter 14
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *