Read Zabbuli Chapter 44 Online
Read Zabbuli Chapter 44 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 44
Essuula 44
1. Twawuliranga n'amatu gaffe; ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.
2. Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo; Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala.
3. Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola: Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, Kubanga baalaba ekisa eri ggwe.
4. Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda: Lagira obulokozi eri Yakobo.
5. Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi: Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe.
6. Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola.
7. Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa.
8. Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)
9. Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So totabaala n'eggye lyaffe.
10. Otuzza nnyuma eri abalabe: N'abo abatukyawa beenyagira.
11. Watuwaayo ng'endiga okuba ennyama; Watusaasaanya mu mawanga.
12. Abantu bo obatundira bwereere, So n'omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo.
13. Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
14. Otufuula olugero mu mawanga, Okunyeenyezebwa kw'omutwe mu bantu.
15. Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde, N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde,
16. Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma; Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga.
17. Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.
18. Omutima gwaffe teguzze nnyuma, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;
19. Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky'ebibe, N'otusaanikiza ekisiikirize eky'okufa.
20. Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe, Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya,
21. Ekyo Katonda talikikenneenya? Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi.
22. Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa.
23. Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.
24. Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira?
25. Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu: Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka.
26. Golokoka okutuyamba, Otununule olw'ekisa kyo.
About Zabbuli Chapter 44
Read Zabbuli Chapter 44 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 44
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 44 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 44?
Zabbuli Chapter 44 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 44 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 64
- Zabbuli Chapter 143
- Zabbuli Chapter 96
- Zabbuli Chapter 133
- Zabbuli Chapter 144
- Zabbuli Chapter 42
- Zabbuli Chapter 54