Read Zekkaliya Chapter 6 Online
Read Zekkaliya Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zekkaliya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zekkaliya 6
Essuula 6
1. Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri; n'ensozi nsozi za bikomo.
2. Ku ggaali ery'olubereberye kwaliko embalaasi za lukunyu; ne ku ggaali ery'okubiri kwaliko embalaasi enzirugavu;
3. ne ku ggaali ery'okusatu kwaliko embalaasi enjeru; ne ku ggaali ery'okuna kwaliko embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru.
4. Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ebyo biki, mukama wange?
5. Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu eziva okuyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi zonna.
6. Liri eririko embalaasi enzirugavu livuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; n'enjeru zaavaayo ennyuma waazo; n'ezitobeseemu obwoya obweru zavaayo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo.
7. N'eza kikuusikuusi zaavaayo nga zaagala okugenda zitambuletambule mu nsi; n'ayogera nti Muveeyo, mutambuletambule mu nsi. Awo ne zitambulatambula mu nsi.
8. Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono banzikakkanyirizza omwoyo mu nsi ey'obukiika obwa kkono.
9. Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti
10. Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babulooni;
11. era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu;
12. omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama:
13. oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.
14. N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu yeekaalu ya Mukama.
15. Era abaali ewala balijja balizimba mu yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.
About Zekkaliya Chapter 6
Read Zekkaliya Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zekkaliya
Chapter: 6
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zekkaliya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zekkaliya Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zekkaliya Chapter 6?
Zekkaliya Chapter 6 is part of the Book of Zekkaliya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zekkaliya Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
Explore More from zekkaliya
- Zekkaliya Chapter 7
- Zekkaliya Chapter 14
- Zekkaliya Chapter 2
- Zekkaliya Chapter 5
- Zekkaliya Chapter 3
- Zekkaliya Chapter 11
- Zekkaliya Chapter 4