Zabbuli Chapter 145

For English

Read Zabbuli Chapter 145 Online

Read Zabbuli Chapter 145 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 145

Essuula 145

1. Naakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka; Era neebazanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.

2. Buli lunaku naakwebazanga; Era naatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.

3. Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo N'obukulu bwe tebunoonyezeka.

4. Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe, Era ginaatenderanga ebikolwa byo eby'amaanyi.

5. Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo, Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo, kwe nnaalowoozanga.

6. Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa nga bya maanyi; Nange naategeezanga obukulu bwo.

7. Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.

8. Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi.

9. Mukama mulungi eri bonna; N'okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.

10. Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama; N'abatukuvu bo banaakweyanzanga.

11. Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo, Banaanyumyanga ku buyinza bwo;

12. Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi, N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe.

13. Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.

14. Mukama awanirira abagwa bonna, Era ayimiriza abakutama bonna.

15. Amaaso g'ebintu byonna gakulindirira; Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.

16. Oyanjuluza engalo zo, N’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.

17. Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna, Era wa kisa mu mirimu gye gyonna.

18. Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, Bonna abamukaabira n'amazima.

19. Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; Era anaawuliranga okukaaba kwabwe anaabalokolanga.

20. Mukama akuuma abo bonna abamwagala; Naye ababi bonna alibazikiriza.

21. Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe.

About Zabbuli Chapter 145

Read Zabbuli Chapter 145 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 145
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 145 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 145?

Zabbuli Chapter 145 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 145 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 143
  2. Zabbuli Chapter 102
  3. Zabbuli Chapter 81
  4. Zabbuli Chapter 9
  5. Zabbuli Chapter 120
  6. Zabbuli Chapter 98
  7. Zabbuli Chapter 55

Related Chapters & Readings

  1. Abaruumi Chapter 6
  2. Zabbuli Chapter 146
  3. Zabbuli Chapter 113
  4. Yoswa Chapter 16
  5. Isaaya Chapter 29
  6. Okubala Chapter 5
  7. Engero Chapter 13
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *