Read Zabbuli Chapter 74 Online
Read Zabbuli Chapter 74 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 74
Essuula 74
1. Ai Katonda, kiki ekyatusuuza ennaku zonna? Kiki ekinyoosa obusungu bwo eri endiga ez'ettale lyo?
2. Ojjukire ekibiina kyo kye wagula edda, Kye wanunula okuba ekika eky'obusika bwo; N'olusozi Sayuuni, lwe watuulangamu.
3. Oyimuse ebigere byo ogende mu bifulukwa ebitavaawo, Obubi bwonna omulabe bwe yakola mu watukuvu.
4. Abalabe bo bawulugumye wakati mu kibiina kyo; Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.
5. Bafaananye ng'abantu abayimusa Embazzi okutema ekisaka eky'omu kibira.
6. Ne kaakano bamenyaamenya emirimu gyawo gyonna emyole N'embazzi n'ennyondo.
7. Bookezza omuliro awatukuvu wo; Banyoomye ennyumba ey'erinnya lyo ne bagisuula wansi.
8. Boogedde mu mitima gyabwe nti Tubazikiririze ddala bonna bonna: Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu nsi.
9. Tetukyalaba bubonero bwaffe; Tewakyali nnabbi n'omu; So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo gye birituusa okubaawo.
10. Ai Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma? Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna?
11. Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo? Oguggye mu kifuba kyo obazikirize.
12. Naye Katonda ye Kabaka wange edda n'edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi.
13. Wayawula ennyanja n'amaanyi go: Wamenya emitwe gy'ensolo mu mazzi.
14. Wamenyaamenya emitwe gya lukwata, Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu.
15. Wasalamu ensulo n'omukka: Wakaza emigga eminene.
16. Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba.
17. Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi.
18. Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, ai Mukama, Era ng'eggwanga essirusiru liboggoledde erinnya lyo.
19. Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna.
20. Ojjukire endagaano: Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima.
21. Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde: Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo.
22. Golokoka, ai Katonda, weewolereze ensonga yo, Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma.
23. Teweerabira ddoboozi lya balabe bo: Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.
About Zabbuli Chapter 74
Read Zabbuli Chapter 74 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 74
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 74 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 74?
Zabbuli Chapter 74 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 74 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 112
- Zabbuli Chapter 144
- Zabbuli Chapter 49
- Zabbuli Chapter 115
- Zabbuli Chapter 130
- Zabbuli Chapter 42
- Zabbuli Chapter 59