Zabbuli Chapter 107

For English

Read Zabbuli Chapter 107 Online

Read Zabbuli Chapter 107 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 107

Essuula 107

1. Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

2. Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo, Be yanunula mu mukono gw'omulabe;

3. N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi, Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, Mu bukiika obwa kkono ne mu bwa ddyo:

4. Baakyamira mu ddungu mu kkubo omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.

5. Baalumibwa enjala n'ennyonta, Emmeeme yaabwe n'ezirika mu bo.

6. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikira kwabwe.

7. Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu.

8. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!

9. Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi.

10. Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa, Nga basibibwa n’ennaku n'ekyuma;

11. Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda, Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu ennyo:

12. Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.

13. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.

14. N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa, N'amenyaamenya enjegere zaabwe.

15. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu.

16. Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo, N'atemera ddala ebisiba eby'ebyuma:

17. Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe, N'olw'obutali butuukirivu bwabwe, babonyaabonyezebwa.

18. Emmeeme yaabwe etamwa emmere yonna yonna; Ne basemberera emiryango egy'okufa.

19. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.

20. Atuma ekigambo kye, n’abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe.

21. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!

22. Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba.

23. Abaserengetera ku nnyanja mu maato, Abakola emirimu awali amazzi amangi;

24. Abo balaba ebikolwa bya Mukama, N'eby'amagero bye mu buziba.

25. Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga, Oguyimusa amayengo gaagwo.

26. Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi: Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku.

27. Beesunda eruuyi n'eruuyi, era batagatta ng'omutamiivu, N'amagezi gonna nga gababuze.

28. Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe.

29. Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka.

30. Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu.

31. Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu

32. Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu, Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde.

33. Afuula emigga eddungu, N'enzizi azifuula ettaka ekkalu;

34. Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo, Olw'obubi bwabo abatuula omwo.

35. Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi, N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi.

36. Omwo mw'atuuza abalumwa enjala, Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu;

37. Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu, Beefunirenga ebibala eby'ekyengera.

38. Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera.

39. Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala.

40. Anyoomesa nnyo abalangira, Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo.

41. Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku. N'amukolera ebika ng'ekisibo.

42. Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka; N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo.

43. Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.

About Zabbuli Chapter 107

Read Zabbuli Chapter 107 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 107
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 107 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 107?

Zabbuli Chapter 107 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 107 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 42
  2. Zabbuli Chapter 108
  3. Zabbuli Chapter 130
  4. Zabbuli Chapter 120
  5. Zabbuli Chapter 116
  6. Zabbuli Chapter 134
  7. Zabbuli Chapter 91

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 54
  2. Zabbuli Chapter 57
  3. Zabbuli Chapter 53
  4. 1 Bassekabaka Chapter 21
  5. Abaruumi Chapter 2
  6. Abakkolosaayi Chapter 3
  7. Abaggalatiya Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *