Zabbuli Chapter 118

For English

Read Zabbuli Chapter 118 Online

Read Zabbuli Chapter 118 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 118

Essuula 118

1. Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

2. Isiraeri ayogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

3. Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

4. Abo abamutya Mukama boogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

5. Bwe nnali mu nnaku ne nkaabira Mukama: Mukama n'anjitaba, n'anteeka mu kifo ekigazi.

6. Mukama ali ku luuyi lwange; siritya: Abantu bayinza kunkola ki?

7. Mukama ali ku luuyi lwange mu abo abannyamba: Kyendiva ndaba bye njagala nga bituuse ku abo abankyaye.

8. Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu.

9. Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abalangira.

10. Amawanga gonna ganneetoolodde: Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.

11. Ganneetoolodde; weewaawo, ganneetoolodde; Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.

12. Banneetoolodde ng'enjuki; bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa: Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza.

13. Bansoya nnyo okungwisa: Naye Mukama n'annyamba.

14. Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange; Era afuuse obulokozi bwange.

15. Eddoboozi ery'essanyu era ery'obulokozi liri mu weema ez'abatuukirivu; Omukono ogwa dddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.

16. Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa: Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.

17. Sirifa, naye naabeeranga mulamu, Era naabuuliranga omirimu gya Mukama.

18. Mukama ambonerezza nnyo: Naye tangabulanga eri okufa.

19. Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu: Naaziyingiramu, ne nneebaza Mukama.

20. Olwo lwe luggi lwa Mukama; Abatuukirivu be baliyingiramu.

21. Naakwebazanga, kubanga onzizeemu, Era ofuuse obulokozi bwange.

22. Ejjinja abazimbi lye baagaana Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda.

23. Ekyo Mukama ye yakikola; Kya kitalo mu maaso gaffe.

24. Luno lwe lunaku Mukama lwe yakola; Tunaasanyuka, tunaajaguliza okwo.

25. Olokole kaakano, tukwegayiridde, ai Mukama: Ai Mukama, tukwegayiridde, oweereze omukisa kaakano.

26. Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama: Tubasabidde omukisa nga tuyima mu nnyumba ya Mukama.

27. Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana Musibe ssaddaaka n'emigwa, musibe ku mayembe g'ekyoto.

28. Ggwe oli Katonda wange, nange naakwebazanga: Ggwe oli Katonda wange, naakugulumizanga.

29. Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

About Zabbuli Chapter 118

Read Zabbuli Chapter 118 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 118
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 118 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 118?

Zabbuli Chapter 118 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 118 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 64
  2. Zabbuli Chapter 117
  3. Zabbuli Chapter 147
  4. Zabbuli Chapter 141
  5. Zabbuli Chapter 78
  6. Zabbuli Chapter 77
  7. Zabbuli Chapter 60

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 6
  2. 2 Abakkolinso Chapter 3
  3. Ekyamateeka Chapter 30
  4. Yobu Chapter 25
  5. Engero Chapter 20
  6. Ezekyeri Chapter 16
  7. Okubala Chapter 36
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *