Read Zabbuli Chapter 103 Online
Read Zabbuli Chapter 103 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 103
Essuula 103
1. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.
2. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna:
3. Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna;
4. Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi:
5. Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda obuggya ng'empungu.
6. Mukama akola eby'obutuukirivu, Atuukiriza emisango ku lw'abo bonna abajoogebwa.
7. Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.
8. Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi.
9. Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna.
10. Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11. Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
12. Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe:
13. Nga kitaabwe bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
14. Kubanga amanyi omubiri gwaffe; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.
15. Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo; Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo.
16. Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.
17. Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya, N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana;
18. Eri abo abakwata endagaano ye, N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola.
19. Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna.
20. Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye.
21. Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; Abaweereza be, abakola by'ayagala.
22. Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, Mu bifo byonna by'afugiramu: Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
About Zabbuli Chapter 103
Read Zabbuli Chapter 103 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 103
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 103 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 103?
Zabbuli Chapter 103 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 103 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 123
- Zabbuli Chapter 66
- Zabbuli Chapter 27
- Zabbuli Chapter 126
- Zabbuli Chapter 30
- Zabbuli Chapter 49
- Zabbuli Chapter 107