Read Engero Chapter 12 Online
Read Engero Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 12
Essuula 12
1. Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋanga ensolo.
2. Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe embi alimusalira omusango okumusinga.
3. Omuntu taanywezebwenga lwa bubi: Naye emmizi gy'abatuukirivu tegijjululwenga ennaku zonna.
4. Omukazi eyeegendereza ngule eri bba: Naye aswaza kivundu mu magumba ge.
5. Ebirowoozo eby'abatuukirivu bya nsonga: Naye ababi bye bateesa bulimba.
6. Ebigambo eby'ababi bya kutega musaayi: Naye akamwa k'abagolokofu kalibawonya.
7. Ababi bameggebwa ne babula: Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira.
8. Omuntu alisiimibwa ng'amagezi ge bwe gali: Naye oyo alina omutima omukyamu alinyoomebwa.
9. Oyo atayitibwa ka buntu, era alina omuddu, Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa era abulwa eby'okulya.
10. Omuntu omutuukirivu alowooza obulamu bw'ensolo ye: Naye okusaasira kw'ababi kukambwe.
11. Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abataliiko kye bagasa abuliddwa okutegeera.
12. Omubi yeegomba ekitimba ky'abasajja ab'ekyejo: Naye ekikolo eky'abatuukirivu kibala ebibala.
13. Mu kusobya kw'emimwa mulimu ekyambika eri omuntu ow'ekyejo: Naye omutuukirivu aliva mu kulaba ennaku.
14. Omuntu alikkuta ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: N'ebikolwa eby'emikono gy'omuntu alibisasulibwa.
15. Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awulira okuweererwa ebigambo.
16. Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu akisa ensonyi.
17. Ayatula eby'amazima ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.
18. Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza ng'okufumita okw'ekitala: Naye olulimi lw'ab'amagezi kwe kulaama.
19. Omumwa ogw'amazima gunaanywezebwanga emirembe gyonna: Naye olulimi olulimba lwa kaseera buseera.
20. Okudyeka kuli mu mitima gy'abo abateesa obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu.
21. Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba: Naye ab'ekyejo balikkuta obubi.
22. Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama: Naye abo abakola eby'amazima b'asanyukira.
23. Omuntu omutegeevu akisa okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru gulaalika obusirusiru.
24. Omukono gw'abanyiikivu gulifuga: Naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw'obuddu.
25. Ennaku bwe ziba mu mutima gw'omuntu zigukutamya; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.
26. Omutuukirivu aba musaale eri munne: Naye ekkubo ery'ababi libawabya.
27. Omuntu omugayaavu tayokya ekyo ky'akutte ng'ayigga; Naye ebintu eby'omuwendo omungi eby'abantu biba bya munyiikivu.
28. Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu; Ne mu luwenda lw'abo temuli kufa.
About Engero Chapter 12
Read Engero Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 12
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 12?
Engero Chapter 12 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from engero
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 6
- Engero Chapter 30
- Engero Chapter 10
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 8
- Engero Chapter 11