Read Zabbuli Chapter 71 Online
Read Zabbuli Chapter 71 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 71
Essuula 71
1. Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga: Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.
2. Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye: Ontegere okutu, ondokole.
3. Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo: Walagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
4. Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
5. Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
6. Ggwe wampanirira okuva mu lubuto: Ggwe wanziya mu byenda bya mmange: Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
7. Nninga ekitalo eri abantu abangi; Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi.
8. Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9. Tonsuula mu biro eby'obukadde; Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
10. Kubanga abalabe bange banjogerako; N'abo abateega emmeeme yange bateesa wamu,
11. Nga boogera nti Katonda amulese: Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.
12. Ai Katonda, tombeera wala: Ai Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13. Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange; Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.
14. Naye naasuubiranga ennaku zonna, Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
15. Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi.
16. Najjanga n'ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda: Naayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17. Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
18. Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
19. Era n'obutuukirivu bwo, ai Katonda, bugulumivu nnyo: Ggwe eyakola ebikulu, Ai Katonda, afaanana nga ggwe ani?
20. Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.
21. Oyongerenga ggwe obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse.
22. Era naakutenderezanga n'endere, Amazima go ge nnaatenderezanga, ai Katonda wange: Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga, Ai ggwe Omutukuvu wa Isiraeri.
23. Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza; N'emmeeme yange gye wanunula.
24. Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde: Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.
About Zabbuli Chapter 71
Read Zabbuli Chapter 71 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 71
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 71 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 71?
Zabbuli Chapter 71 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 71 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 16
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 111
- Zabbuli Chapter 104
- Zabbuli Chapter 69
- Zabbuli Chapter 103
- Zabbuli Chapter 81
- Zabbuli Chapter 143
- Zabbuli Chapter 58