Isaaya Chapter 21

For English

Read Isaaya Chapter 21 Online

Read Isaaya Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 21

Essuula 21

1. Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiika obwa ddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa.

2. Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, n'omunyazi anyaga. Yambuka, ggwe Eramu: zingiza, ggwe Obumeedi; okussa ebikkowe kwayo kwonna nkukomezza.

3. Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala: nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋetereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba.

4. Omutima gwange guwejjawejja, okwesisiwala kunkanze: ekiro kye nnali neegomba kifuuse gye ndi kukankana.

5. Bategeka emmeeza, bassaawo abakuumi, balya, banywa: mugolokoke, mmwe abakulu, musiige amafuta ku ngabo.

6. Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'analaba:

7. era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiina ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga nnyo nga yeetegereza bulungi.

8. N'akaaba ng'empologoma nti Ai Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi muggalire.

9. era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu. N'addamu n'ayogera nti Babulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bimenyese okutuuka ku ttaka.

10. Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyange: ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.

11. Omugugu gwa Duuma. Waliwo ampita ng'ayima ku Seyiri nti Omukuumi, eby'ekiro bitya? Omukuumi, eby'ekiro bitya?

12. Omukuumi n'ayogera nti Enkya ejja, era n'ekiro: bwe mwagala okubuuza, mubuuze: mukyuke mujje.

13. Omugugu oguli ku Buwalabu. Mu kibira mu Buwalabu mwe mulisula, mmwe ebibiina ebya Abadedeni ebitambula.

14. Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetera amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe.

15. Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego omunaanule, n'obubi bw'entalo.

16. Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo:

17. n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaaayi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.

About Isaaya Chapter 21

Read Isaaya Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 21
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 21?

Isaaya Chapter 21 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 15
  2. Isaaya Chapter 62
  3. Isaaya Chapter 30
  4. Isaaya Chapter 27
  5. Isaaya Chapter 22
  6. Isaaya Chapter 1
  7. Isaaya Chapter 34

Related Chapters & Readings

  1. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7
  2. Nekkemiya Chapter 1
  3. 1 Bassekabaka Chapter 3
  4. Matayo Chapter 11
  5. Abakkolosaayi Chapter 3
  6. Isaaya Chapter 28
  7. 2 Bassekabaka Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *