Read Zabbuli Chapter 50 Online
Read Zabbuli Chapter 50 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zabbuli 50
Essuula 50
1. Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasizza.
2. Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza.
3. Katonda waffe alijja, so talisirika; Omuliro gulirya mu maaso ge, Omuyaga omungi gulimwetooloola.
4. Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango:
5. Mukuŋŋaanye abatukuvu bange awamu we ndi; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka.
6. N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini. (Seera)
7. Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange naakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo.
8. Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.
9. Siriggya seddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10. Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ez'oku nsozi lukumi.
11. Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi: N'ensolo ez'omu nsiko zange.
12. Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde: Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo.
13. Nze naalyanga ennyama eya seddume, Oba naanywanga omusaayi gw'embuzi?
14. Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo:
15. Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze!
16. Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka gange, N'oyingiza endagaano yange mu kamwa ko?
17. Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula ennyuma wo.
18. Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi.
19. Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lukola eby'obulimba.
20. Otuula ng'ovuma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
21. Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
22. Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya:
23. Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.
About Zabbuli Chapter 50
Read Zabbuli Chapter 50 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zabbuli
Chapter: 50
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zabbuli Chapter 50 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zabbuli Chapter 50?
Zabbuli Chapter 50 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 50 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Zabbuli
- Zabbuli Chapter 107
- Zabbuli Chapter 24
- Zabbuli Chapter 29
- Zabbuli Chapter 10
- Zabbuli Chapter 102
- Zabbuli Chapter 78
- Zabbuli Chapter 109