Zabbuli Chapter 73

For English

Read Zabbuli Chapter 73 Online

Read Zabbuli Chapter 73 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zabbuli and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zabbuli 73

Essuula 73

1. Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, Eri abo abalina emitima emirongoofu.

2. Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa; Okutambula kwange kwabulako katono okuseerera.

3. Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya, Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.

4. Kubanga bafa tebalumwangako: Naye amaanyi gaabwe ganywera.

5. Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala:

6. Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo.

7. Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.

8. Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi: Boogera ebikulu.

9. Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu, N'olulimi lwabwe lutambulatambula mu nsi.

10. Abantu be kyebava bakomawo wano: N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala.

11. Era boogera nti Katonda amanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?

12. Laba, abo be babi; Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna.

13. Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona;

14. Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya.

15. Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo; Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo.

16. Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyanteganya ne kinnema;

17. Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero.

18. Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi: Obasuulira ddala ne bazikirira.

19. Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono Entiisa zibamalirawo ddala.

20. Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.

21. Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange yanfumita;

22. Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera; Nali nsolo mu maaso go.

23. Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.

24. Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.

25. Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.

26. Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.

27. Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.

28. Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.

About Zabbuli Chapter 73

Read Zabbuli Chapter 73 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zabbuli in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zabbuli
Chapter: 73
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zabbuli. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zabbuli Chapter 73 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zabbuli Chapter 73?

Zabbuli Chapter 73 is part of the Book of Zabbuli in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zabbuli Chapter 73 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 12
  4. Engero Chapter 23
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 17
  7. Engero Chapter 10

Explore More from Zabbuli

  1. Zabbuli Chapter 52
  2. Zabbuli Chapter 15
  3. Zabbuli Chapter 19
  4. Zabbuli Chapter 150
  5. Zabbuli Chapter 36
  6. Zabbuli Chapter 76
  7. Zabbuli Chapter 97

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 4
  2. Abaebbulaniya Chapter 5
  3. Okuva Chapter 21
  4. Ezekyeri Chapter 32
  5. Olubereberye Chapter 11
  6. 1 Ebyomumirembe Chapter 12
  7. 1 Bassekabaka Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *