Engero Chapter 25

For English

Read Engero Chapter 25 Online

Read Engero Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 25

Essuula 25

1. Era na zino ngero za Sulemaani, abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika.

2. Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda: Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka.

3. Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. N'omutima gwa bakabaka tegunoonyezeka.

4. Ggyangamu amasengere mu ffeeza, Ne muvaamu ekibya eky'omulongoosa:

5. Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka, N'entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu.

6. Teweekuza mu maaso ga kabaka, So toyimiriranga mu kifo eky'abakulu:

7. Kubanga waakiri bakugambe nti Yambuka wano; N'otossibwa wansi mu maaso g'omulangira, Amaaso go gwe galabye.

8. Tofulumanga mangu okuwakana, Olemenga okubulwa ku nkomerero by'oba okola, Munno ng'akuswazizza.

9. Wozanga ensonga yo ne munno yennyini, So tobikkulanga kyama kya beene:

10. Akiwulira alemenga okukuvuma, Okuswala kwo ne kutavangawo.

11. Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.

12. Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'ekyobuyonjo ekya zaabu ennungi, Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda.

13. Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,

14. Ng'ebire n'empewo awatali nkuba, Bw'atyo bw'abeera oyo eyeenyumiriza olw'ebirabo bye ng'alimba.

15. Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu, N'olulimi olugonvu lumenya eggumba.

16. Olabye omubisi gw'enjuki? lyangako ogunaakumala obumazi; Olemenga okugukkuta n'ogusesema.

17. Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno; Alemenga okukunyiwa n'akukyawa.

18. Omuntu awaayiriza munne Nnyondo n'ekitala n'akasaale ak'obwogi.

19. Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby'okulabiramu ennaku Linnyo erimenyese n'okugulu okusowose.

20. Ng'omuntu ayambula ekyambalo mu biro eby'empewo, era ng'omwenge omukaatuufu, oguli ku luvu, Bw'atyo bw'abeera oyo ayimbira ennyimba omutima oguliko obuyinike.

21. Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere ey'okulya; Era bw'alumwanga ennyonta, omuwanga amazzi okunywa:

22. Kubanga olikuma amanda ag'omuliro ku mutwe gwe, Era Mukama alikuwa empeera.

23. Embuyaga ez'obukiika obwa kkono zireeta enkuba: N'olulimi olulyolyoma bwe luleeta bwe lutyo amaaso agaliko obusungu.

24. Beeranga waggulu ku nnyumba awafunda, Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.

25. Ng'amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, Ebigambo ebirungi ebiva mu nsi ey'ewala bwe biba bwe bityo.

26. Ng'oluzzi olutabanguse, n'ensulo eyonoonese, Omuntu omutuukirivu bw'abeera bw'atyo bw'asegulira omubi.

27. Si kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo abantu okunoonya ekitiibwa kyabwe bo si kitiibwa.

28. Ataziyiza mwoyo gwe Ali ng'ekibuga ekimenyese so nga tekirina bbugwe.

About Engero Chapter 25

Read Engero Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 25
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 25 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 25?

Engero Chapter 25 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 25 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 27
  2. Engero Chapter 6
  3. Engero Chapter 9
  4. Engero Chapter 7
  5. Engero Chapter 30
  6. Engero Chapter 24
  7. Engero Chapter 12

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 145
  2. Zabbuli Chapter 69
  3. Yeremiya Chapter 11
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 23
  5. Yakobo Chapter 3
  6. Yeremiya Chapter 33
  7. Zabbuli Chapter 87
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *