Read Yoswa Chapter 5 Online
Read Yoswa Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoswa in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yoswa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yoswa 5
Essuula 5
1. Awo bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba; ne bakabona ab'Abakanani, abaali ku nnyanja, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okutuuka bwe twamala okusomoka, omutima gwabwe ne gusaanuuka, so nga tewakyali alina omwoyo mu bo; olw'abaana ba Isiraeri.
2. Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti Weekolere obwambe obw'amayinja, okomole nate abaana ba Isiraeri omulundi ogw'okubiri.
3. Yoswa ne yeekolera obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi olw'ebikuta.
4. Era eno ye nsonga eyabakomoza Yoswa: abasajja bonna abaava mu Misiri, abalwanyi bonna, ne bafiira mu ddungu mu kkubo, bwe baamala okuva mu Misiri.
5. Kubanga abantu bonna abaavaayo ne bakomolwa: naye abantu bonna abaazaalirwa mu ddungu mu kkubo nga bava mu Misiri nga tebakomolwanga.
6. Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka amakumi ana mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi abaava mu Misiri; lwe lyaggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama: Mukama be yalayirira obutabaganya kulaba nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okutuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
7. N'abaana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola: kubanga baali si bakomole, kubanga tebaabakomolera mu kkubo.
8. Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira ne bamala okuwona.
9. Mukama n'agamba Yoswa nti Leero njiringisizza ekivume eky'e Misiri okukibaggyako. Erinnya ery'ekifo kiri kyeryava liyitibwa Girugaali ne kaakano.
10. Abaana ba Isiraeri ne basula mu Girugaali; ne balya Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo mu lusenyi olw'e Yeriko.
11. Okuyitako ng'eweddeko ku lunaku olw'enkya ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukuswa ne kasooli omusiike, ku lunaku olwo.
12. N'emmaanu n'eggwaawo enkya, bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwaako; abaana ba Isiraeri ne bataba na mmaanu nate; naye ne balya ku mmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.
13. Awo, Yoswa bwe yali ng'asembedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, nga wayimiridde omuntu okumwolekera eyalina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amugamba nti Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?
14. N'ayogera nti Nedda; naye omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano. Yoswa n'amufukaamirira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti Mukama wange agamba atya omuddu we?
15. Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti Yambula engatto yo mu kigere kyo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu. Yoswa n'akola bw'atyo.
About Yoswa Chapter 5
Read Yoswa Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoswa in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yoswa
Chapter: 5
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yoswa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yoswa Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yoswa Chapter 5?
Yoswa Chapter 5 is part of the Book of Yoswa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yoswa Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 16
Explore More from yoswa
- Yoswa Chapter 21
- Yoswa Chapter 24
- Yoswa Chapter 22
- Yoswa Chapter 12
- Yoswa Chapter 14
- Yoswa Chapter 1
- Yoswa Chapter 23