Read Yokaana Chapter 17 Online
Read Yokaana Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yokaana and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yokaana 17
Essuula 17
1. Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize:
2. nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo.
3. Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo.
4. Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza.
5. Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo.
6. Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo.
7. Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe:
8. kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
9. Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo:
10. era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo.
11. Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe.
12. Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.
13. Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
14. Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.
15. Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi.
16. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
17. Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima,
18. Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi.
19. Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima.
20. So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe;
21. bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.
22. Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu;
23. nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze.
24. Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.
25. Kitange Omutuukirivu ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma;
26. era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.
About Yokaana Chapter 17
Read Yokaana Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yokaana
Chapter: 17
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yokaana Chapter 17 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yokaana Chapter 17?
Yokaana Chapter 17 is part of the Book of Yokaana in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yokaana Chapter 17 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Yakobo Chapter 5
Explore More from yokaana
- Yokaana Chapter 13
- Yokaana Chapter 9
- Yokaana Chapter 16
- Yokaana Chapter 14
- Yokaana Chapter 5
- Yokaana Chapter 2
- Yokaana Chapter 8