Read Isaaya Chapter 32 Online
Read Isaaya Chapter 32 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 32
Essuula 32
1. Laba, kabaka alifuga n'obutuukirivu, n'abakulu balifuga n'omusango.
2. Era omuntu aliba ng'ekifo eky'okwekwekamu eri empewo, n'ekiddukiro eri kibuyaga; ng'emigga gy'amazzi mu kifo ekikalu, ng'ekisiikirize ky'olwazi olunene mu nsi ekooyesa.
3. N'amaaso g'abo abalaba tegalibaako kifu, n'amatu g'abo abawulira galiwuliriza.
4. N'omutima gw'oyo eyeeyinula gulitegeera okumanya, n'olulimi lw'abanaanaagize lulyeteekateeka okwogera obulungi.
5. Omugwagwa nga tebakyamuyita mugabi, so n'omukodo nga tebamuyita wa kisa.
6. Kubanga omugwagwa alyogera eby'obugwagwa, n'omutima gwe gulikola ebitali bya butuukirivu, okukola eby'okuvuma Katonda, n'okwogera ebikyamu ku Mukama, okulumya enjala obulamu bw'omuyala, n'okumalawo ow'ennyonta kye yandinywedde.
7. Era n'ebintu eby'omukodo bibi: asala enkwe embi okuzikiriza omuwombeefu n'ebigambo eby'obulimba atalina kintu ne bw'ayogera eby'ensonga.
8. Naye omugabi alowooza bya kugaba; era mu by'okugaba mw'alinywerera.
9. Mugolokoke, mmwe abakazi abalangajja, muwulire eddoboozi lyange; mmwe abawala abataliiko kye mulowooza, mutegere amatu ebigambo byange.
10. Mulinakuwalira ennaku ezirisussa omwaka, mmwe abakazi abataliiko kye mulowooza: kubanga ebikungulwa eby'emizabbibu birifa, okukungula tekulituuka.
11. Mukankane, mmwe abakazi abalangajja; munakuwale, mmwe abataliiko kye mulowooza: mwambule mubeere bwereere, mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12. Balikuba mu kifuba olw'ennimiro ez'okusanyuka, olw'omuzabbibu omugimu.
13. Ku nsi y'abantu bange kulimera amaggwa ne katazamiti; weewaawo, ku nnyumba zonna ez'essanyu mu kibuga eky'essanyu:
14. kubanga olubiri lulirekebwawo; ekibuga eky'abantu abangi kiriba kifulukwa; olusozi n'ekigo ekirengererwako biriba mpuku ennaku zonna, ssanyu lya ntulege, ddundiro lya magana;
15. okutuusa omwoyo lwe gulitufukibwako okuva waggulu, eddungu ne lifuuka ennimiro eŋŋimu, ennimiro eŋŋimu ne bagiyita kibira.
16. Kale omusango gulituula mu ddungu, n'obutuukirivu bulibeera mu nnimiro eŋŋimu.
17. N'omulimu gw'obutuukirivu guliba mirembe; era obutuukirivu bulireeta okutereera n'okwesiganga ennaku zonna.
18. N'abantu bange balituula mu kifo eky'emirembe ne mu nnyumba ez'enkalakkalira, ne mu biwummulo ebitereevu.
19. Naye omuzira gulitonnya, ekibira bwe kirigwa; n'ekibuga kirisuulirwa ddala wansi.
20. Mulina omukisa mmwe abasiga ku mabbali g'amazzi gonna, abasindika ebigere by'ente n'endogoyi.
About Isaaya Chapter 32
Read Isaaya Chapter 32 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 32
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
- 📱 Hindi Android Bible App
- 📱 Hindi Christian Songs from waytochurch
- 📖 Read on Malayalam Christian Songs – madely
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 32 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 32?
Isaaya Chapter 32 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 32 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 10
- Engero Chapter 22
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 3
- Isaaya Chapter 62
- Isaaya Chapter 29
- Isaaya Chapter 16
- Isaaya Chapter 27
- Isaaya Chapter 60
- Isaaya Chapter 56