Yeremiya Chapter 35

For English

Read Yeremiya Chapter 35 Online

Read Yeremiya Chapter 35 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 35

Essuula 35

1. Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti

2. Genda eri ekika eky'Abalekabu oyogere nabo obayingize mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge ekimu, obawe omwenge okunywa.

3. Kale ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu;

4. ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyaliraana ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi:

5. ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti Munywe omwenge.

6. Naye bo ne boogera nti Tetuunywe ku mwenge: kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti Temunywanga ku mwenge, mmwe newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna:

7. so temuzimbanga nnyumba so temusiganga nsigo, so temusimbanga lusuku lwa mizabbibu so temubanga nazo: naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mutuulamu.

8. Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku mwenge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe;

9. newakubadde okwezimbira ennyumba okutuulamu: so tetulina lusuku lwa mizabbibu newakubadde ennimiro newakubadde ensigo.

10. naye twabanga mu weema ne tugonda ne tukola nga byonna bwe byali Yonadaabu jjajjaffe bye yatulagira.

11. Naye olwatuuka Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'olw'okutya eggye ery'Abasuuli; kyetuva tubeera e Yerusaalemi.

12. Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya nga kyogera nti

13. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Temukkirize kuyigirizibwa okuwuliriza ebigambo byange? bw'ayogera Mukama.

14. Ebigambo bya Yonadaabu mutabani wa Lekabu bye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, byatuukirizibwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe: naye nze nayogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; so temumpulirizanga.

15. N'okutuma mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temuteganga kutu kwammwe so temumpulirizanga.

16. Kubanga batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebampulirizza;

17. Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi obubi bwonna bwe nnaakaboogerako: kubanga nayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba.

18. Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjammwe ne mukwata byonna bye yakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira;

19. Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna.

About Yeremiya Chapter 35

Read Yeremiya Chapter 35 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 35
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 35 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 35?

Yeremiya Chapter 35 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 35 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 5
  2. Yeremiya Chapter 24
  3. Yeremiya Chapter 37
  4. Yeremiya Chapter 38
  5. Yeremiya Chapter 43
  6. Yeremiya Chapter 22
  7. Yeremiya Chapter 39

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 67
  2. 2 Samwiri Chapter 22
  3. Ekyamateeka Chapter 19
  4. Ekyamateeka Chapter 10
  5. 1 Samwiri Chapter 14
  6. Ekyamateeka Chapter 1
  7. 1 Samwiri Chapter 24
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *