1 Samwiri Chapter 3

For English

Read 1 Samwiri Chapter 3 Online

Read 1 Samwiri Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Samwiri 3

Essuula 3

1. Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. N'ekigambo kya Mukama kyali kya muwendo mungi mu nnaku ezo; tewaabangawo kwolesebwa kwa lwatu.

2. Awo olwatuuka mu biro ebyo, Eri ng'agalamidde mu kifo kye, (n’amaaso ge gaali gatanudde okuyimbaala n'atayinza kulaba,)

3. n'ettabaaza ya Katonda nga tennazikira, ne Samwiri ng'agalamidde okwebaka mu yeekaalu ya Mukama omwali ssanduuko ya Katonda;

4. awo Mukama n'ayita Samwiri: n'ayogera nti Nze nzuuno.

5. N'addukana mbiro n'ajja eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'ayogera nti Sikuyise; galamira nate. N'agenda, n'agalamira.

6. Mukama n'amuyita nate olw'okubiri nti Samwiri. Samwiri n’agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'addamu nti Sikuyise, mwana wange; galamira nate.

7. Era Samwiri yali tannamanya Mukama, so n'ekigambo kya Mukama kyali tekinnamubikkulirwa.

8. Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogw'okusatu. N'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. Awo Eri n'ategeera nga Mukama ye ayise omwana.

9. Eri kyeyava agamba Samwiri nti Genda ogalamire: awo olunaatuuka, bw'anaaba ng'akuyise, n'oyogera nti Yogera, Mukama wange; kubanga omuddu wo awulira. Awo Samwiri n’agenda n'agalamira mu kifo kye.

10. Mukama n'ajja n'ayimirira n'ayita ng'olulala nti Samwiri, Samwiri. Awo Samwiri n'ayogera nti Yogera; kubanga omuddu wo awulira.

11. Mukama n'agamba Samwiri nti Laba, ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira.

12. Ku lunaku olwo ndituukiriza ku Eri byonna bye nnaakayogera ku nnyumba ye, okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomeraro.

13. Kubanga namugamba nga ndisalira ennyumba ye omusango ogw'ennaku zonna, olw'obutali butuukirivu bwe yamanya, kubanga batabani be beereetako ekikolimo, ye n'atabaziyiza.

14. Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Eri tebugenda kulongoosebwa na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo ennaku zonna.

15. Samwiri n'agalamira n'akeesa obudde, n'alyoka aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama. Samwiri n'atya okubuulira Eri bye yayolesebwa.

16. Awo Eri n'ayita Samwiri n'ayogera nti Samwiri, mwana wange. N'ayogera nti Nze nzuuno.

17. N'ayogera nti Kigambo ki Mukama ky'akugambye? nkwegayiridde, tokinkisa: Katonda akukole bw'atyo n'okukirawo, bw'ononkisa ekigambo kyonna ku ebyo byonna by'akugambye.

18. Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. N'ayogera nti Ye Mukama: akole nga bw'asiima.

19. Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, n'ataganya bigambo bye kugwa wansi na kimu.

20. Abaisiraeri bonna okuva eri Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.

21. Mukama n'alabikira nate mu Siiro: kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro n'ekigambo kya Mukama.

About 1 Samwiri Chapter 3

Read 1 Samwiri Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Samwiri
Chapter: 3
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Samwiri Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Samwiri Chapter 3?

1 Samwiri Chapter 3 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-samwiri

  1. 1 Samwiri Chapter 29
  2. 1 Samwiri Chapter 24
  3. 1 Samwiri Chapter 31
  4. 1 Samwiri Chapter 30
  5. 1 Samwiri Chapter 28
  6. 1 Samwiri Chapter 26
  7. 1 Samwiri Chapter 25

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zabbuli Chapter 76
  2. Okubala Chapter 3
  3. Okuva Chapter 29
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 13
  5. Ezekyeri Chapter 37
  6. 1 Bassekabaka Chapter 21
  7. Ebyabaleevi Chapter 4

Related Chapters & Readings

  1. Okuva Chapter 1
  2. Yobu Chapter 18
  3. Okuva Chapter 19
  4. Yeremiya Chapter 13
  5. 1 Bassekabaka Chapter 17
  6. Ezekyeri Chapter 36
  7. Omubuulizi Chapter 12
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *