Engero Chapter 8

For English

Read Engero Chapter 8 Online

Read Engero Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 8

Essuula 8

1. Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleeta ddoboozi lyakwo?

2. Enguudo we zisibuka mu kkubo Mu masaŋŋanzira we gayimirira;

3. Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Abantu we bayingirira awali enzigi googerera waggulu:

4. Mmwe abasajja, mbakoowoola; N'eddoboozi lyange liri eri abaana b'abantu.

5. Mmwe abatalina magezi, mutegeerenga obukabakaba; Nammwe, abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera.

6. Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; N'okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby'ensonga.

7. Kubanga akamwa kange kanaayogera eby'amazima; N'obubi bwa muzizo eri emimwa gyange.

8. Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kintu ekikyamakyama newakubadde ekyenyodde.

9. Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri abo abalaba okumanya.

10. Mukkirize okuyigiriza kwange so si ffeeza; N'okumanya okukira zaabu ennonde.

11. Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu; N'ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago.

12. Nze amagezi nfudde obukabakaba okuba ennyumba yange Era nnoonya okumanya n'okuteesa.

13. Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Amalala n'essukuti n'ekkubo ebbi N'akamwa akabambaavu bye nkyawa.

14. Okuteesa kwange n'okumanya okutuufu: Nze ndi kutegeera; nnina amaanyi.

15. Ku bwange bakabaka bafuga, Abalangira ne bateeka eby'obutuukiruvu.

16. Ku bwange abalangira bafuga, N'abakungu, abalamuzi bonna ab'oku nsi:

17. Njagala abo abanjagala; N’abo abanyiikira okunnoonya balindaba.

18. Obugagga n’ekitiibwa biri nange; Wewaawo, obugagga obw’enkalakkalira n’obutuukirivu.

19. Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, weewaawo, zaabu ennungi; N'amagoba gange gakira ffeeza ennonde.

20. Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, Wakati mu mpenda ez'okusala emisango:

21. Ndyoke mpe abo abanjagala okusikira ebintu, Era njijuze amawanika gaabwe.

22. Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera, Okusooka emirimu gye egy'edda.

23. Nateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo.

24. Nga tewannabaawo buziba, nazaalibwa; Ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnabaawo.

25. Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, Nasooka obusozi okuzaalibwa:

26. Ye nga tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Newakubadde enfuufu ey'ensi eyasooka.

27. Bwe yanyweza eggulu, nze naliyo: Bwe yakulunga amaaso g'obuziba:

28. Bwe yanyweza eggulu waggulu: Ensulo ez'ennyanja bwe zaafuuka ez'amaanyi:

29. Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okusobya ekiragiro kye: Bwe yalamba emisingi gy'ensi:

30. Kale nze nga ndi awo gy'ali ng'omukoza: Era bulijjo yansanyukiranga, Nga njaguliza bulijjo mu maaso ge;

31. Nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu; N'essanyu lyange lyali n'abaana b'abantu.

32. Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange.

33. Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi, So temugagaananga.

34. Alina omukisa omuntu ampulira, Ng'atunuulira bulijjo ku nzigi zange, Ng'alinda awali emifuubeeto gy'enzigi zange.

35. Kubanga buli alaba nze alaba bulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama.

36. Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye: Bonna abakyawa nze baagala okufa.

About Engero Chapter 8

Read Engero Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 8
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 8?

Engero Chapter 8 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 1
  2. Engero Chapter 9
  3. Engero Chapter 31
  4. Engero Chapter 7
  5. Engero Chapter 19
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 14

Related Chapters & Readings

  1. Okubala Chapter 22
  2. Matayo Chapter 9
  3. Zabbuli Chapter 15
  4. Yokaana Chapter 14
  5. Ezekyeri Chapter 35
  6. 1 Ebyomumirembe Chapter 3
  7. Abaggalatiya Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *