Read Yeremiya Chapter 24 Online
Read Yeremiya Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yeremiya 24
Essuula 24
1. Mukama yanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini ebiteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama; Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni ng'amaze okutwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi okubaggya mu Yerusaalemi, era ng'abatutte e Babulooni.
2. Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nnungi nnyo, ng'ettiini ezisooka okwengera: n'ekibbo eky'okubiri kyalimu ettiini mbi nnyo ezitaliika, kubanga zaayinga obubi.
3. Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olaba ki, Yeremiya? Ne njogera nti Ttiini; ettiini ennungi nnungi nnyo; n'embi mbi nnyo ezitaliika, kubanga ziyinga obubi.
4. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
5. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Ng'ettiini zino ennungi, bwe ntyo bwe ndirowooza abasibe ba Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya, olw'obulungi.
6. Kubanga nditeeka amaaso gange ku bo olw'obulungi, era ndibakomyawo nate mu nsi eno: era ndibazimba so siribaabya; era ndibasimba so siribasimbula.
7. Era ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe: kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.
8. Era ng'ettiini embi ezitaliika, kubanga ziyinga obubi; mazima bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri:
9. ndibagabula okuyuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka bwe zenkana olw'obubi; okuba ekivume n'olugero n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera.
10. Era ndiweereza ekitala n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnawa bo ne bajjajjaabwe.
About Yeremiya Chapter 24
Read Yeremiya Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yeremiya
Chapter: 24
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yeremiya Chapter 24 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yeremiya Chapter 24?
Yeremiya Chapter 24 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 24 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
Explore More from Yeremiya
- Yeremiya Chapter 47
- Yeremiya Chapter 51
- Yeremiya Chapter 37
- Yeremiya Chapter 45
- Yeremiya Chapter 39
- Yeremiya Chapter 13
- Yeremiya Chapter 48