2 Samwiri Chapter 5

For English

Read 2 Samwiri Chapter 5 Online

Read 2 Samwiri Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Samwiri 5

Essuula 5

1. Awo ebika byonna ebya Isiraeri ne bajja eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti Laba, tuli magumba go era mubiri gwo.

2. Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wafulumya n'oyingiza Isiraeri: Mukama n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba mukulu wa Isiraeri.

3. Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama: ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.

4. Dawudi yali yaakamaze emyaka asatu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka ana.

5. Yafugira Yuda e Kebbulooni emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi yafugira Isiraeri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.

6. Awo kabaka n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi, abaatuula mu nsi: abaagamba Dawudi nti Bw'otolimalawo bazibe ba maaso n'abawenyera, toliyingira muno: nga balowooza nti Dawudi tayinza kuyingira muno.

7. Era naye Dawudi n'amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi.

8. Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti Buli anatta Abayebusi, ayambuke awali olusalosalo atte abazibe b'amasso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi b'ekyawa. Kyebaava boogera nti Waliwo abazibe b'amasso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.

9. Dawudi n'abeera mu kigo n'akiyita ekibuga kya Dawudi. Era Dawudi yazimba okwetooloola okuva e Miro n'okuzza munda.

10. Awo Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, yali naye.

11. Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka n'emivule n'ababazzi n'abazimbi b'amayinja; ne bazimbira Dawudi ennyumba.

12. Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Isiraeri.

13. Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni: Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.

14. Era gano ge mannya g'abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu ne Nasani ne Sulemaani,

15. ne Ibali ne Eriswa; ne Nefegi ne Yafiya;

16. ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti.

17. Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga bamaze okumufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; Dawudi n'akiwulira n'aserengeta mu mpuku.

18. Awo Abafirisuuti baali bazze ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu.

19. Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti Nnyambuke eri Abafirisuuti? on'obagabula mu mukono gwange? Mukama n'agamba Dawudi nti Yambuka: kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.

20. Dawudi n'ajja e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gamenya. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baalupera.

21. Ne baleka eyo ebifaananyi byabwe, Dawudi n'abasajja be ne babitwala.

22. Awo Abafirisuuti ne beeyongera okwambuka olw'okubiri ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu.

23. Awo Dawudi bwe yabuuza Mukana n'ayogera nti Toyambuka: weetooloole ennyuma waabwe obafulume mu maaso g'emitugunda.

24. Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g’emitugunda, n’olyoka ogolokoka: kubanga awo Mukama ng'akukulembedde okukuba eggye ly'Abafirisuuti.

25. Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira; n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa lw'otuuka e Gezeri.

About 2 Samwiri Chapter 5

Read 2 Samwiri Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Samwiri
Chapter: 5
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Samwiri Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Samwiri Chapter 5?

2 Samwiri Chapter 5 is part of the Book of 2 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Samwiri Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-samwiri

  1. 2 Samwiri Chapter 4
  2. 2 Samwiri Chapter 15
  3. 2 Samwiri Chapter 21
  4. 2 Samwiri Chapter 16
  5. 2 Samwiri Chapter 20
  6. 2 Samwiri Chapter 2
  7. 2 Samwiri Chapter 12

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 25
  2. Zabbuli Chapter 19
  3. Okubala Chapter 27
  4. Ekyabalamuzi Chapter 13
  5. Zabbuli Chapter 116
  6. Olubereberye Chapter 18
  7. Zabbuli Chapter 72

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 39
  2. Okuva Chapter 33
  3. Yokaana Chapter 13
  4. Olubereberye Chapter 25
  5. Ekyabalamuzi Chapter 19
  6. 1 Bassekabaka Chapter 8
  7. Abaruumi Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *