Yokaana Chapter 5

For English

Read Yokaana Chapter 5 Online

Read Yokaana Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yokaana and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yokaana 5

Essuula 5

1. Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka ku Yerusaalemi.

2. Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano.

3. Mu ebyo mwagalamirangamu ekibiina ky'abalwadde, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, nga balindirira amazzi okubimba:

4. kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okugendamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe bwe yabanga nabwo.

5. Ne wabaawo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana.

6. Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu?

7. Omulwadde n'amuddamu nti Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera: nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.

8. Yesu n'amugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule.

9. Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti.

10. Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti Leero ssabbiiti, muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.

11. Naye n'abaddamu nti Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.

12. Ne bamubuuza nti Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti Weetikke otambule?

13. Naye eyawonye nga tamanyi bw'ali: kubanga Yesu yali amaze okugenda, abantu abaali mu kifo kiri nga bangi.

14. Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu yeekaalu, n'amugamba nti Laba, oli mulamu: toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.

15. Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamponya.

16. Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti.

17. Naye Yesu n'abaddamu nti Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.

18. Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.

19. Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo.

20. Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye.

21. Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa.

22. Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna;

23. bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma.

24. Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.

25. Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu.

26. Kubanga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;

27. era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.

28. Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,

29. ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.

30. Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.

31. Bwe nneetegeeza ebyange nze, okutegeeza kwange si kwa mazima.

32. Waliwo omulala ategeeza ebyange; nange mmanyi nti ebyange by'ategeeza bya mazima.

33. Mmwe mwatumira Yokaana naye n'ategeeza amazima.

34. Naye okutegeeza kw'omuntu sikukkiriza nze: naye njogera ebyo mmwe mulokoke.

35. Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala ekiseera kitono okusanyukira okutangaala kwe.

36. Naye okutegeeza kwe nnina kwe kukulu okusinga okwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gitegeeza ebyange nga Kitange ye yantuma.

37. Era Kitange eyantuma oyo ye yategeeza ebyange. Temwawulira ddoboozi lye n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.

38. So temulina kigambo kye nga kibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza.

39. Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange;

40. era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu.

41. Siweebwa bantu kitiibwa.

42. Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu.

43. Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza.

44. Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?

45. Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira.

46. Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze.

47. Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?

About Yokaana Chapter 5

Read Yokaana Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yokaana
Chapter: 5
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yokaana Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yokaana Chapter 5?

Yokaana Chapter 5 is part of the Book of Yokaana in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yokaana Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 3
  2. Ebikolwa Chapter 4
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 2
  5. Ebikolwa Chapter 1
  6. Ebikolwa Chapter 27
  7. Ebikolwa Chapter 28

Explore More from yokaana

  1. Yokaana Chapter 7
  2. Yokaana Chapter 15
  3. Yokaana Chapter 10
  4. Yokaana Chapter 18
  5. Yokaana Chapter 16
  6. Yokaana Chapter 21
  7. Yokaana Chapter 19

Related Chapters & Readings

  1. Ebikolwa Chapter 23
  2. 1 Abakkolinso Chapter 14
  3. Yobu Chapter 2
  4. 1 Bassekabaka Chapter 11
  5. 2 Abakkolinso Chapter 4
  6. Zabbuli Chapter 8
  7. 2 Bassekabaka Chapter 6
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *