Yeremiya Chapter 28

For English

Read Yeremiya Chapter 28 Online

Read Yeremiya Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 28

Essuula 28

1. Awo olwatuuka mu mwaka ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga mu mwaka ogw'okuna mu mwezi ogw'okutaano Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nti

2. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Mmenye ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni.

3. Emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako ndireeta nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babulooni:

4. era ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abasibe bonna aba Yuda abaagenda e Babulooni, bw'ayogera Mukama: kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.

5. Awo nnabbi Yeremiya n'agamba nnabbi Kananiya, bakabona nga weebali n'abantu bonna abayimiridde mu nnyumba ya Mukama nga weebali,

6. nnabbi Yeremiya n'ayogera nti Amina: Mukama akole bw'atyo: Mukama atuukirize ebigambo byo by'olagudde okukomyawo ebintu by'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna ab'obusibe okubaggya e Babulooni okubaleeta mu kifo kino.

7. Era naye wulira nno ekigambo kino kye njogera mu matu go ne mu matu g'abantu bonna, nti

8. Bannabbi abansooka nze era abaakusooka ggwe edda baalagulanga eri ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka amakulu, nga balagula obulwa n'obubi ne kawumpuli.

9. Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale nnabbi alimanyibwa nga Mukama yamutuma mazima.

10. Awo Kananiya nnabi n'aggya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya n'agumenya.

11. Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako. Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo.

12. Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya, Kananiya nnabbi ng'amaze okumenya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya, nga kyogera

13. nti Genda obuulire Kananiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Omenye ekikoligo eky'emiti, naye olikola ekikoligo eky'ebyuma okudda mu kifo kyakyo.

14. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ntadde ekikoligo eky'ebyuma ku nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni; era balimuweereza: era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko.

15. Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba Kananiya nnabi nti Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye weesiza abantu bano eky'obulimba.

16. Mukama kyava ayogera nti Laba, ndikusindika okuva ku nsi: mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.

17. Awo Kananiya nnabbi n'afiira mu mwaka ogwo mu mwezi ogw'omusanvu.

About Yeremiya Chapter 28

Read Yeremiya Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 28
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 28 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 28?

Yeremiya Chapter 28 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 28 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 17
  2. Engero Chapter 12
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 25
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 23
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 6
  2. Yeremiya Chapter 29
  3. Yeremiya Chapter 42
  4. Yeremiya Chapter 35
  5. Yeremiya Chapter 36
  6. Yeremiya Chapter 20
  7. Yeremiya Chapter 26

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 3
  2. Yokaana Chapter 13
  3. Okubala Chapter 22
  4. Zabbuli Chapter 6
  5. 2 Abakkolinso Chapter 11
  6. Olubereberye Chapter 13
  7. Makko Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *