Read Eseza Chapter 7 Online
Read Eseza Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Eseza in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Eseza and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Eseza 7
Essuula 7
1. Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga wamu ne Eseza kaddulubaale.
2. Awo kabaka n'agamba nate Eseza ku lunaku olw'okubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Kiki ky'osaba, kaddulubaale Eseza, era onookiweebwa: era kiki kye weegayirira? ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.
3. Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ai kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange olw'okusaba kwange, n'abantu bange olw'okwegayirira kwange:
4. kubanga tutundiddwa, nze n'abantu bange okuzikirizibwa, okuttibwa n'okubula. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa.
5. Awo kabaka Akaswero n'alyoka ayogera n'agamba Eseza kaddulubaale nti Ani era ali ludda wa ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?
6. Awo Eseza n'ayogera nti Omulabe era, atukyawa, Kamani ono omubi. Awo Kamani n'atya mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale.
7. Awo kabaka n'agolokoka ng'aliko ekiruyi n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri: Kamani n'ayimirira okusaba obulamu bwe eri Eseza kaddulubaale; kubanga yalaba obubi kabaka bw'amuteeserezza.
8. Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti N'okukwata anaakwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba? Ekigambo nga kiva mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani.
9. Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano Kamani kyakoledde Moluddekaayi, eyayogera olwa kabaka ebirungi, kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani. Kabaka n'ayogera nti Mumuwanike okwo.
10. Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali asimbidde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
About Eseza Chapter 7
Read Eseza Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Eseza in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Eseza
Chapter: 7
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Eseza. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Eseza Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Eseza Chapter 7?
Eseza Chapter 7 is part of the Book of Eseza in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Eseza Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from eseza
- Eseza Chapter 9
- Eseza Chapter 3
- Eseza Chapter 5
- Eseza Chapter 1
- Eseza Chapter 10
- Eseza Chapter 6
- Eseza Chapter 4