Yobu Chapter 30

For English

Read Yobu Chapter 30 Online

Read Yobu Chapter 30 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 30

Essuula 30

1. Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange.

2. Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki? Abantu abaweddemu obuvubuka,

3. Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala; Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka.

4. Banoga enkunga awali ebisaka; N'enkolo ez'omwoloola ye mmere yaabwe.

5. Bagobebwa wakati mu bantu; Babalangira nga bwe balangira omubbi.

6. Kibagwanira okubeera mu njatika ez'omu biwonvu, Mu bunnya obw'omu ttaka n'obw'omu njazi.

7. Balirira mu bisaka, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira.

8. Baana ba basirusiru, weewaawo, baana ba basajja abatalina linnya; Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi.

9. Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Weewaawo, ndi kigambo kya buwemu gye bali.

10. Bantamwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso.

11. Kubanga asumuludde omugwa gwe n'ambonyaabonya, Era basudde olukoba olugoba mu maaso gange.

12. Ku mukono gwange ogwa ddyo kugolokokera abalalulalu; Basindiikiriza ebigere byange, Era batuuma ku nze amakubo gaabwe ag'okuzikirira.

13. Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye, Abantu ababulwa ow'okubayamba.

14. Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Wakati mu matongo bangwako.

15. Ebitiisa bikyuse okungwako, Bayigganya ekitiibwa kyange ng'empewo; N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire.

16. Era kaakano emmeeme yange efukiddwa munda yange; Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zinkutte.

17. Ekiro amagumba gange gafumitibwa mu nze, N'obubalagaze obunnuma tebuwummula.

18. Olw'amaanyi amangi ag'endwadde yange ekyambalo kyange kyonoonese: Ensibira ddala ng'ekitogi ky'ekizibawo kyange.

19. Ansudde mu bitosi, Era nfuuse ng'enfuufu n'evvu.

20. Nkukaabira so tonziramu: Nayimirira, n'ontunuulira.

21. Okyuse okuba omukambwe gye ndi: Olw'amaanyi ag'omukono gwo onjigganya.

22. Onsitulira awali empewo n'ozinneebagazaako; Era onsaanuusizza mu kibuyaga,

23. Kubanga mmanyi ng'olintuusa mu kufa, N'eri ennyumba eyateekerwawo abalamu bonna.

24. Mazima taagololere mukono gwe ku kifunvu ky'ebyagwa; Newakubadde nga bibeera mu kuzikirira kwe, omuntu ayinza okulira olw'ebyo.

25. Saamukaabira amaziga oyo eyali mu nnaku? Emmeeme yange teyanakuwalira oyo eyeetaaga?

26. Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ne biryoka bijja; Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza ne kijja.

27. Ebyenda byange byesera ne bitawummula: Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko.

28. Ntambula nga mpuubaala awatali njuba: Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe.

29. Ndi muganda w'ebibe, Ne bamaaya ndi munnaabwe.

30. Eddiba ery'omubiri gwange liddugadde, linsasambukako, N'amagumba gange gookeddwa n'ebbugumu.

31. Ennanga yange kyevudde ekyuka okuwuubaala, N'omulere gwange gufuuse ddoboozi ly'abo abakaaba amaziga.

About Yobu Chapter 30

Read Yobu Chapter 30 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 30
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 30 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 30?

Yobu Chapter 30 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 30 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 16
  2. Yobu Chapter 26
  3. Yobu Chapter 41
  4. Yobu Chapter 31
  5. Yobu Chapter 28
  6. Yobu Chapter 23
  7. Yobu Chapter 10

Related Chapters & Readings

  1. Engero Chapter 9
  2. Makko Chapter 11
  3. 1 Abakkolinso Chapter 13
  4. Mikka Chapter 7
  5. Omubuulizi Chapter 6
  6. 2 Samwiri Chapter 10
  7. Okubala Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *