Read Olubereberye Chapter 4 Online
Read Olubereberye Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 4
Essuula 4
1. Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama.
2. Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka.
3. Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta ebibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda.
4. Abiri naye n'aleeta ku baana b'endiga ze ababereberye n'amasavu gaazo. Mukama n'akkiriza Abiri ne ky'awaddeyo.
5. Naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka.
6. Mukama n'agamba Kayini, nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go?
7. Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoomufuganga.
8. Kayini n'ayogera ne Abiri muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta.
9. Mukama n'agamba Kayini nti, Aluwa Abiri muganda wo? N'ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange?
10. N'ayogera nti Okoze ki? Eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi.
11. Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo;
12. bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze.
13. Kayini n'agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange, tekuyinzika kugumiikirizibwa.
14. Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era nnaabanga mmomboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita.
15. Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta.
16. Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni.
17. Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we.
18. Ne Enoka n'azaala Iradi: Iradi n'azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri: Mesusaeri nazaala Lameka:
19. Lameka n'awasa abakazi babiri; ow'olubereberye erinnya lye Ada, n'ow'okubiri erinnya lye Zira.
20. Ada n'azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w'abo abatuula mu weema nga balunda.
21. N'erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w'abo abakuba ennanga n'omulere.
22. Nate Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama.
23. Lameka n'agamba bakazi be nti Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange: Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange: Kubanga natta omusajja kubanga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze:
24. Obanga Kayini aliwalanirwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka aliwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.
25. Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta.
26. Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erinnya lya Mukama.
About Olubereberye Chapter 4
Read Olubereberye Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 4
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 4?
Olubereberye Chapter 4 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 20
- Olubereberye Chapter 47
- Olubereberye Chapter 34
- Olubereberye Chapter 17
- Olubereberye Chapter 37
- Olubereberye Chapter 42
- Olubereberye Chapter 39