2 Ebyomumirembe Chapter 12

For English

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 12 Online

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Ebyomumirembe 12

Essuula 12

1. Awo olwatuuka obwakabaka bwa Lekobowaamu bwe bwanywezebwa n'aba n'amaanyi, kale n'aleka amateeka ga Mukama, ne Isiraeri yenna wamu naye.

2. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi, kubanga basobezza Mukama,

3. ng'alina amagaali lukumi mu ebikumi bibiri n'abasajja abeebagala embalaasi obukumi mukaaga: n'abantu abajja naye abaava mu Misiri nga tebabalika; Abalubimu n'Abasukkiyimu n'Abaesiyopya.

4. N'amenya ebibuga ebiriko enkomera ebya Yuda, n'ajja e Yerusaalemi.

5. Awo Semaaya nabbi n'ajja eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olwa Sisaki, n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbaleka mu mukono gwa Sisaki.

6. Awo abakulu ba Isiraeri ne kabaka ne beetoowaza; ne boogera nti Mukama mutuukirivu.

7. Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Semaaya nga kyogera nti Beetoowazizza; siribazikiriza: naye naabawaako okuwonyezebwa, n'obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki.

8. Era naye baliba baddu be; bamanye okuweereza kwange n'okuweereza kw'obwakabaka bw'ensi bwe kufaanana.

9. Awo Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi n'aggyayo obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka; byonna n'abitwalira ddala: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yakola.

10. Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu bifo byazo, n'aziteresa mu mikono gy'abaami b'abambowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.

11. Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bajja ne bazisitula, ne bazizza mu nju ey'abakuumi.

12. Awo bwe yeetoowaza, obusungu bwa Mukama ne bukyuka okumuvaako, aleme okumuzikiririza ddala: era nate mu Yuda mwalabika ebirungi.

13. Awo kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi n'afuga, kubanga Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n’erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.

14. N'akola ebyali ebibi, kubanga teyakakasa mutima gwe okunoonya Mukama.

15. Era ebikolwa bya Lekobowaamu, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi ng'engeri bw'eri ey'ebitabo eby'okuzaalibwa? Ne wabanga entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu obutayosa.

16. Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi: Abiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.

About 2 Ebyomumirembe Chapter 12

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 12
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Ebyomumirembe Chapter 12?

2 Ebyomumirembe Chapter 12 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Ebyomumirembe

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 34
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 19
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 9
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 10
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 6
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 22
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 15

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Olubereberye Chapter 40
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 36
  3. Isaaya Chapter 41
  4. Ebyabaleevi Chapter 11
  5. Zabbuli Chapter 71
  6. Zabbuli Chapter 47
  7. Ezekyeri Chapter 8

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 50
  2. Matayo Chapter 20
  3. Ebikolwa Chapter 6
  4. Ezekyeri Chapter 24
  5. Yoswa Chapter 14
  6. 2 Peetero Chapter 3
  7. Ezekyeri Chapter 29
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *